Amawulire

ABANTU 1,544 basiddwawo okuyamba ku bayizi  4,655 ab'ekibiina ekyomusanvu  abalina obulemu ku mibiri gyabwe abagenda okutuula ebigezo bya PLE.

By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU 1,544 basiddwawo okuyamba ku bayizi  4,655 ab'ekibiina ekyomusanvu  abalina obulemu ku mibiri gyabwe abagenda okutuula ebigezo bya PLE.

Ku bayizi bano, kuliko abawala 2,303 ate abalenzi bali 2,352 era nga bakuboongeramu eddakiika 45 okusobola okuwandiika obulungi ebigezo byabwe ebitandika enkya ku Lwokubiri , bamalirize ku Lwokusatu.

Mu kiseera kino, teri ssomero likkizibwa kuddamu kusomesa muyizi yenna ow'ekibiina  ekyomusanvu okuva ku Lwokutaano lwe bamaze okubateekateeka , era oyo yenna anakwatibwa, kakumujjutuka.

Abayizi abewandiisa ,bali 920,833 ku centres 16,478 . Kuliko abayizi abawala 484, 620 ate abalenzi bali 436,213.  Ku bano 53 basibe abagenda okutuulira mu kkomera e Luzira . Abayizi 576,342 bali ku nsoma ya UPE ate 344,491 b'amasomero g'obwannanyini.

Omwogezi w'ekitongole kya UNEB , Jennifer Kalule - Musamba , alabudde ku koppa n'okubba ebigezo nti ebibonerezo bikakali

Tags: