Amawulire

Poliisi ekyagenda mu maaso n'okunoonyereza ku nfa ya Kapere ey'ekibwatukira

POLIISI mu Kampala, ekyagenda mu maaso n'okubuuliriza ku nfa eyakibwatukira eya  munnakatemba era kazannyirizi wa Amarula Famire, Yokaana  Mbuuse Lufootoose, abadde amanyiddwa nga   Kapere

Poliisi ekyagenda mu maaso n'okunoonyereza ku nfa ya Kapere ey'ekibwatukira
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI mu Kampala, ekyagenda mu maaso n'okubuuliriza ku nfa eyakibwatukira eya  munnakatemba era kazannyirizi wa Amarula Famire, Yokaana  Mbuuse Lufootoose, abadde amanyiddwa nga   Kapere .

Kapere yafudde agenze kukyalira mwana we ku ssomero lya Jolibo daycare and Junior  School  mu Kimbejja - Nansove e Buddo mu Kyengera Town Council mu Wakiso eggulo, era nga kigambibwa nti okufaakwe , bakukasirizza ku ddwaaliro lya real Health Services .

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Mulago okugwekeneenya okuzuula ekyavuddeko okufaakwe.

Tags: