Amawulire

Ssaazi ajulidde mu musango gw'akalulu

OMUBAKA wa Gomba East mu palamenti Godfrey Ssaazi ajulidde ng'awakanya kkooti enkulu okumugoba mu palamenti.

Ssaazi ajulidde mu musango gw'akalulu
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision
OMUBAKA wa Gomba East mu palamenti Godfrey Ssaazi ajulidde ng'awakanya kkooti enkulu okumugoba mu palamenti.
 
Ng'ayita mu bannamateeka aba Magna Advocates ,Ssaazi awakanya ensala y'omulamuzi Jameson Karemani kweyawa wiiki ewedde bweyasazaamu okulondebwa kwa ssaazi n'alagira akalulu kaddibwemu.
 
Kirumira Henry Harris Kalule yeywaabira Ssaazi ng'awakanya ebyava mu kalulu akaaliwo ku ntandikwa y'omwaka guno.
 
Ssaazi mukujulira kwe ategeezezza nti ensala y'omulamuzi Karemani gyeyagamba nti waliwo vulugu eyaliwo n'akosa ebyava mu kalulu ekyaviirako okulangirira akalulu okuddibwamu.
 
Kyokka tawakanya Karemani kyeyagamba nti ssaazi ng'omuntu teyenyigira mu vvulugu eyaliwo eyaviirako obululu okuva mu bifo bitaano awalonderwa obutabalibwa  
Tags: