Amawulire

ABANTU babiri abagambibwa okuba abafere, bawonye okugajambulwa e Bugiri

ABANTU babiri abagambibwa okuba abafere, bawonye okugajambulwa abatuuze bwe babakkanyeko ne babakuba nga babalanga okufera Munnakenya ensimbi ezisoba mu bukadde 6.

ABANTU babiri abagambibwa okuba abafere, bawonye okugajambulwa e Bugiri
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU babiri abagambibwa okuba abafere, bawonye okugajambulwa abatuuze bwe babakkanyeko ne babakuba nga babalanga okufera Munnakenya ensimbi ezisoba mu bukadde 6.

Richard  Emuloni omutuuze w'e Nkusi cell e Bugiri municipality ne John Tukei ow'e Nakavule e Iganga , be bakubiddwa ennyo abatuuze olw'ebigambibwa nti babbye Omusomaali ensimbi obukadde obusoba mu 6 mu ngeri y'okumufera. Mu kiseera kino babajanjabira ku mpingu.

Kigambibwa nti bano , baalimbye Omusuubuzi Omusomaali  Isaac Muhammed 55 ng'akolera ku nsalo e Malaba nga bwe baabadde balina ddoola nga baagala abaweemu ssente ze Kenya.

Nti oluvannyuma baamuwadde kalifoomu ne bamunyagako ssente z'e Kenya 6,600,000/. Oluvannyuma Omusomaali yabaguddeko ku Total e Bugiri n'abagoberera okutuuka ku kyalo Buliwaigulu mu muluka gw'e Bubugo mu Ggombolola y'e Buwunga n'abakubira enduulu abatuuze ne babataayiza ne babakuba bubi nnyo.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti bakuumirwa ku ddwaaliro e Bugiri gye bafunira obujanjabi ne pikipiki nnamba UMA 924AM Bajaaj kwe baabadde batambulira nayo eri ku poliisi e Bugiri nga bwe banoonyereza.

Tags: