Amawulire

Abadde agufudde omuze okubba emirongooti kkooti emusingisizza omusango n'ayatula obulokozi

Disan Ssekalevu 29, abadde agufudde omuze okubba ebyuma by’emirongooti kkooti egumusingisizza omusango n’ayatula obulokozi asomye Zzabuli 32:5 n’agamba nti aboneredde.

Abadde agufudde omuze okubba emirongooti kkooti emusingisizza omusango n'ayatula obulokozi
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

Disan Ssekalevu 29, abadde agufudde omuze okubba ebyuma by’emirongooti kkooti egumusingisizza omusango n’ayatula obulokozi asomye Zzabuli 32:5 n’agamba nti aboneredde.

 

Ono avunaanibwa n’omusuubuui wa sikulaapu mu Kisenyi ,Edrick Miravumba. Baakudda mu kkooti omulamuzi Gladys Kamasanyu okubasalira.

 

Bavunaanibwa okubba omulongooti gwa American Tower Coperation e Ntinda.

 

Omuwaabi wa gavumenti yasabye Ssekalevu asibibwe emyaka 10 nti kubanga guno mulundi  gwakubiri ng’abba emirongooti n’akyusa amannya, kyokka bo beegayiridde babasonyiwe.

Tags:
Amawulire
Omuze
Mirongooti
Musango
Kusingisa
Muze