Amawulire

Kitalo! Omukazi afumise muliraanwa we ekiso n'amutta lwa kumulangira bulogo!

Afudde ategeerekeseko erya Innocent era ng’ono e Busaabala abadde ayitibwa Innocent munyarwanda ng’abadde bbuloka w’ettaka n’emirimu emirala egy’enjawulo

Kitalo! Omukazi afumise muliraanwa we ekiso n'amutta lwa kumulangira bulogo!
By: Benjamin Ssemwanga, Journalist @New Vision

ABATUUZE b’e Busaabala baguddemu ekyekango oluvannyuma olwa mutuuze munnaabwe okufumitibwa ekiso ekimutiddewo.

Difensi w'ekyalo Katugga ng'alaga omugenzi w'abadde asula

Difensi w'ekyalo Katugga ng'alaga omugenzi w'abadde asula

Afudde ategeerekeseko erya Innocent era ng’ono e Busaabala abadde ayitibwa Innocent munyarwanda ng’abadde bbuloka w’ettaka n’emirimu emirala egy’enjawulo.

 

Amufumise ekiso ekimutiddewo ategeerekese nga Lillian Nakazibwe. Okusinziira ku batuuze ababaddewo, kigambibwa nti ababiri bano babadde baliraanwa era nga bavudde emabega nga balwanagana nga bwe beerangira okwetta.

Innocent bw'abadde afaanana

Innocent bw'abadde afaanana

Baliraanwa ba bano bombi bagamba nti baludde nga buli omu alangira munne obulogo nga kino kye kisitudde olutalo ne kiwaliriza Nakazibwe okuvaayo n’ekiso mu nnyumba n’afumita Innocent n’amutta!

Tags:
Amawulire
Bulogo
Kiso
Kufumita
Kutta