MUKAWEEFUBE w'okulaba nga abaana ba Africa naddala mu Uganda bawona okufa enjala n'okulya emmere etalina kiriisa, ekitongole ekirabirira abaana nga kimanyibwa nga SOS Childrens Village basse omukago ne kampuni ya Roofings okulaba nga babawa emitti egivaako ebibala bagisimbe
Edwin Nabasa okuva mu Roofings agambye nti bagenze okulaba nga abaana bangi abava mu masomero olw'okubulwa ekyokulya naye mukaweefube atuumibwa FOR EVER FORESTRY baagala okulaba nga balwanyisa ekizibu ky'ebbula ly'ebyokulya nga basimba ebibala .

Aba SOS nga bali n'aba Roofings
Ekitongole kya SOS basobodde okufuna emitti 2000 okuli ffene, amapeera, emiyembe n'ebibala nga Nabaasa agamba baagala kusimba ebibala kubanga omuntu asobola okulya ebibala, asobola okutunda nafuna sente ate omutti wegukadiwa nagusala nagutunda oba nafuna embawaawo.
Ono agambye nti bakutwaala emitti gyebibala gino mu maka g'abaana bonna gebalina okuli Padel awali abaana abangi abava mumasomero ate nga yemu kungeri yokuzaawo obutonde mu butungu bya Gulu , Padel nawalala.
Assembyeyo nga agamba nti ebibala byamugaso nnyo eli abaana mumere gyebalya nolwekyo kyetagisa enkolagana eno eyokusimba emitti gyebibala okukolebwa