ABATUUZE ku kyalo Bubbaale ekisangibwa mu diviizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana baliko abavubuka babiri be bakutte nga babateebereza okubeera ababbi b’embuzi wabula omu bamukubye emiggo egimusse ekireetedde abalala okwemulugunya nga bagamba nti omu atiddwa tabadde mubbi.
Kyokka amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Oyowesigyire agambye nti nga poliisi etandise okunonyerezza ku bantu abatwalidde amateeka mu ngalo era omulambo gwatwaliddwa mu gwanika lye ddwaliro e Mulago abasawo bagende mu maaso n'okugwekebegya.