AINE Sodo Kaguta muto wa pulezidenti Museveni agaanye ebyokuteesa ne munnamateeka Jet Tumwebaze ,agambye Jet oba ayagala agyeyo omusango bwalemwa battunke mu kkooti.
Babadde bakomyewo mu kkooti omulamuzi Benald Namanya n'abagamba basobola okuteesa ne bakkaanya mu kiseera ky’abawadde kubanga nakyo kikkirizibwa.

Jet Tumwebaze eyawaabira Sodo ng'awera

Sodo ng'ava mu kkooti
bannamateeka ba Sodo baasamu okusaba nga bagala kkooti egaanye Tumwebaze okwewolereza nti kubanga yawaaba, ye mujulizi n'olwekyo tayinza kubeera looya mu kiseera kye kimu.
Jet yawaabira Sodo ng’awakanya obuyigirize bwe bwagamba nti tasaanidde kubeera mu palamenti ngalina biwandiiko bya senior six byokka awatali wadde okubaako obukugu obulalal bweyafunamu ebbaluwa.