Amawulire

4 bafiiridde mu kabenje ka ttakisi eyayambalaganye ne Box Body ng'egezaako okuyisa ku misinde

ABANTU bana bafudde n'abalala 9 ne balumizibwa mu kabenje akagudde e Walusiisi mu kabuga k'e Mijeera ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu e Nakasongola.

4 bafiiridde mu kabenje ka ttakisi eyayambalaganye ne Box Body ng'egezaako okuyisa ku misinde
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU bana bafudde n'abalala 9 ne balumizibwa mu kabenje akagudde e Walusiisi mu kabuga k'e Mijeera ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu e Nakasongola.

Box body ttakisi gye yayambalaganye nayo

Box body ttakisi gye yayambalaganye nayo

Kano kabaddewo ku ssaawa 4:30 mu kiro ekikeesezza leero, era ng'abalumiziddwa 9 n'abasajja 4 abafudde,  bano babadde mu ttakisi nnamba UA 154FQ ng'eyolekera Kampala.

 

Kabaddemu emmotoka nnamba CGO 0778AC mercedes -Benz ng'evugibwa Vison Muhindo ne ttakisi UA 154 FQ nga ddereeva waayo tannamanyika n'endala UAL 445H Isuzu box body ng'evugibwa Edward Nsubuga 60.

 

Kitegeezeddwa nti Benz ebadde yayonoonekedde mu luguudo kati kamunye ebadde eva mu bitundu by'e Ggulu ku misinde emingi ng'agezaako okugiyisa , kwe kusangayo Box body n'agiwugula n'atomera Benz emabega ate era box body nayo n'etomera kamunye. Ddereeva wa Benz , bamukutte.

 

Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twiineamazima, agambye nti abalumiziddwa batwaliddwa mu ddwaaliro lya Nakasongola Health centre 4 n'emirambo ne gitwalibwa mu ggwanika ate kamunye n'etwalibwa ku poliisi e Mijeera naye ng'endala ebbiri zikyali mu kifo awabadde akabenje.

Tags:
Amawulire
Kabenje
Ttakisi
Loole
Kuyisa