Amawulire

Omubaka Charles Tebandeke kkooti ekakasizza obuwanguzi bwe

OMUBAKA Charles Tebandeke(NUP) asagambiza oluvanyuma lw'omulamuzi wa kooti enkulu e Mukono, Philp Mwaka okukakasa obuwanguzi bwe ng'omubaka omulonde owa konsitituwensi ye Bbaale.

Omubaka Charles Tebandeke (wakati) ku kkono ye munnamateeka we Gilbert Bukiya n'abamu ku bawagizi be
By: Teopista Nakamya, Journalist @New Vision

OMUBAKA Charles Tebandeke(NUP) asagambiza oluvanyuma lw'omulamuzi wa kooti enkulu e Mukono, Philp Mwaka okukakasa obuwanguzi bwe ng'omubaka omulonde owa konsitituwensi ye Bbaale.

Ono yali yatwalibwa mu kooti omu ku banne bwe baavuganya mu kalulu akaggwa akaaliwo nga 15 January 2026, Arthur Kiiza(Independent ) abadde awakanya obuwanguzi bwe n'engeri gyeyeeyisangamu mu kaseera ka kampeyini.

Kiiza mu mpaaba ye yawakanya 'erinnya Goliyasi eryakozesebwa nga Tebandeke mu kkampeyi mweyategeereza nga nti ye Daudi agenda okumegga Goliyasi.

Mu mbeera eno Kiiza mu mpaaba yayagala Tebandeke annyonnyole lwaki yamuyita nga Goliyasi wadde nga Tebandeke agamba okozesa erinnya eryo yali ategeeza bizibu bye Bbaale.

Mu lukungaana lwa bannamawulire olutuuziddwa ku palamenti, Tebandeke ategeezezza nti omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono,Mwaka yawadde ensala ku musango ogwamuwawabirwa era namulangirira nga omubaka omulonde owa Bbaale.

Omusango gwa wuliddwa ku nkola ya zzuumu era obuwanguzi bwamuweerezeddwa mu buwandiike ku imail ng'esaawa zikunukiriza okuwera essatu ez'ekiro ku Lwokusatu .

Kyokka awera nti tagenda kuleka Kiiza ng'ayinayina alina okuliwa ssente zonna zayonoonedde mu musango guno zigase abantu be Bbaale.

Omu ku bannamateeka ba Tebandeke ababadde musango guno, okuva mu Volens advocates, kkanso Gilbert Bukiya asiimye kkooti olw'okuyimirira ku mazima n'ewa ensala etaliimu kyekubira wabula amazima ameereere.

Ekiddako, agambye nti bakutuula nga bannamateeka ababadde mu musango guno babalirire ssente zonna ezikozeseddwa olwo nno balyoke basalewo omuwendo Kiiza gwalina Okuliwa.

Kyokka abamu ku bakansala okuli Joel Kayira akiikirira egombolola ye Galiraya wamu n'abatuuze ababadde bajagulizaako omubaka Tebandeke bamulabudde nti nekamutanda nasonyiwa Kiiza obutaliwa bajakumanya nti abaliddemu olukwe.

Tebande annyonnyole  nti, guno si gwe mulundi ogusoose nga obuwanguzi bwe buwakanyizibwa nga ne mukisanja kye ekyasooka mu palamenti mu 2021 era yatwalibwa mu kooti omusango n'aguwangula.

Tags: