Amawulire

Omuwendo gw'abaana abagambibwa okufa obutwa ku ssomero lya Ta-Aliim P/S and Quran Memorisation Centre

OMUWENDO gw’abayizi ba pulayimale abagambibwa okulya obutwa  ku ssomero lya Ta-Aliim P/S and Quran Memorisation  Centre mu kikulu zone mu muluka gw’e Kikaaya mu Kwempe gweyongedde.

Minisita Ogwanga ng'annyonnyola ku nsonga z'abaana
By: Teopista Nakamya, Journalist @New Vision

OMUWENDO gw’abayizi ba pulayimale abagambibwa okulya obutwa  ku ssomero lya Ta-Aliim P/S and Quran Memorisation  Centre mu kikulu zone mu muluka gw’e Kikaaya mu Kwempe gweyongedde.

Ku bana abasoose okumanyikibwa okufa okuli abadde asoma p.4 , Mariam Nakitende 11,  Rahimah Kiruuta 11(p.5), Nusufa Nasuuna 11 (p.4) ne Failuzi Nabeta 9 (p.3), minisita omubeezi ow’ebyemizanyo Peter Ogwang ategeezezza nti ate kweyongeddeko ow’okutaano

Abyogeredde  mu lutuula lwa palamenti leero ku Lwokuna oluvanyuma lw’omubaka Erias Nalukoola (Kawempe North) okuteeka gavumenti kunninga okunnyonnyola  ekituufu ekyaviiriddeko abaana abo okufa.

Mw’ategeerezza nti enfa yaabwe ekyatankanibwa wakati ng’abamu bagamba nti baalidde miccungwa  ate abalala nti baalidde butwa.

Omubaka wa Kawempe North Nalukoolo nga naye ayogera ku nsonga z'abaana

Omubaka wa Kawempe North Nalukoolo nga naye ayogera ku nsonga z'abaana

Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga gyasinze okutunuuliza ensonga eno, eyeby’obulamu nagiwanjagira okulaba ng’abakawonawo bafuna obujjanjabi obulungi n’okubudaabuddibwa ate ekitongole kya KCCA n’akisaba okulondoola obuyonjo bw’essomero.

Eri abazadde abafiiriddwa abaana, Nalukoola asabye ofiisi ya katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja okubakwasizaako mu nsonga z’okuziika ng’a yegattiddwako Betty Ethel Naluyima(mukazi/Wakiso) asabye minisitule y’ebyenjigiriza okunyweza amateeka ku mmere mu massomero..

Minisita Ogwang bw’abadde ayogera ku nsonga eno , asoose kubategeeza nga bwafunye amawulire nti abaana abakafa baweze bataano era natuusa okusaasira eri ffamire z’abagenzi.

Oluvanyuma lw’okutegeeza nti ekitongole kya KCCA kivunaanyizibwa ku buyonjo  n’okulondoola omutindo gwe mmere eriibwa abayizi mu kitundu kyevunaanyizibwako, ayise minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga Juma Witonze okulambulula okunoonyereza wekutuuse.

Ng’abavunaanyizibwa ku nsonga z’ebyokwerinda, Witonze agambye olwafunye amawulire ago, ekitongole kya poliisi kya situkiddemu nekiggya siteetimenti ku bantu abasangiddwawo n’emibiri gy’abagenzi negitwalibwa e Mulago okwekebejjebwa.

Omukulu w’essomero omwafiiridde abayizi, Muzahim Ssuuna ,  Witonze agambye nti kati atemeza mabega wa mitayimbwa ng’okunoonyereza bwekugenda maaso.

Asabye palamenti ebawe obudde, wiiki ejja bajanjulire lipooti ejjudde obukakafu ku nfa y’abayizi .

Akulira oludda oluvuganya mu palamenti, Joel Ssenyonyi ateesezza nti  gavumenti nga bwekola ekisoboka okuzuula ekyasse abaana, effeeyo nekubasimatuse okulaba nga bawona ate ne lipooti ereetebwe mu bwangu.

Tags: