Abantu Bana abagambibwa okwenyigira mu kubba amafuta, poliisi ebakutte e Iganga.
Kigambibwa nti zino, zaakamiddwa okuva mu lukululana ey’amafuta eyabadde esimbiddwa ku ssundiro ly'amafuta mu Naabirye e Nakalama mu Iganga.
Abakwatiddwa kuliko Abas Mukama, Aminsi Isiko, Geoffrey Obonyo ne Fahad nga kigambibwa nti baabadde n'ebidomola by'amafuta ebiwera 32, pikipiki okuli nnamba UGE 841V ne UGD 494E, empiira eziyambisibwa okunuuna amafuta, emmotoka n'ebintu ebirala.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, alabudde abatambuza, abatunda, abasuubula amafuta n'abagakama mu mmotoka, nti bonna, baakukwatibwa bavunaanibwe ku musango guno ogw’obulabe.