Abaayingira mu masiro e Kasubi ne babba ebyuma by’emirongooti gubasinze, balinze kubasalira. Disan Ssekalevu ne Edrick Miravumba be baasingiddwa okusaalimbira ku miringooti, okubba ebyuma byagyo ssaako okubeera nebintu ebibbe.
Omuwaabi wa gavumenti, Nazir Kagawa okuva mu kitongole ky’ebyempuliziganya ekya UCC ategeezezza kkooti nti nga June,9 omwaka guno Ssekalevu yayingira mu masiro e Kasubi n’abba ebyuma by’omulongooti nnamba 6071201 ng’ayita mu kageeti akatono n’akozesa ebisumuluzo okuggulawo n’ayingira ku mulongooti n’abba ebyuma ebikasuka amayengo ebiyitibwa Universal Base Band Processing Board ebya kkampuni ya American Tower Coperation.
Amangu ddala abakulu mu kkampuni eyo baafuna obubaka bw’okucankalanyizibwa kw’omulongooti era baatukaawo nga byabbiddwa ne beeyambisa ebifaanyi bya CCTV ebyakwatibwa kkamera za masiro ne balaba Ssekalevu ng’akozesa mmotoka UAQ 689 N ng’ayingira era ne yeesogga omulongootj nga wano we baatandikira okumuyigga ne bamukwatira e Naggalama- Mukono.
Ssekalevu oluvannyuma yatwala poliisi mu Kisenyi ku dduka lya sikulaapu erya Miravumba ng’ono bwe bamwaza baasanga alina ebyuma ebikasuka amayengo munaana nga yabifuna mu bukyamu.
Baabadde mu maaso g’omulamuzi Gladys Kamasanyu ne bakkirizza byonna ebyabasomeddwa bw’atyo n’abasindika mu kkomera okutuusa nga November 24, 2026 lwe banadda okubasalira.
Bano wiiki ewedde kkooti era yabasalira emyaka 6 n’esatu ku misango era egyekuusa ku kubba ebyuma by’emirongooti.