Amawulire

Abakaayanira obwassentebe e Buwonzi - Nansana bakoze ofiisi 2 ku kyalo ne basobera abatuuze

ABATUUZE ku kyalo Buwonzi ekisangibwa mu ggombolola y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana basobeddwa olwa bassentebe ababiri okukaayanira obukulembeze ekitadde ekitundu ku bunkenke nga buli omu agamba nti ye ssentebe w’ekyalo.

Abakaayanira obwassentebe e Buwonzi - Nansana bakoze ofiisi 2 ku kyalo ne basobera abatuuze
By: Wasswa Ssentongo, Journalist @New Vision

ABATUUZE ku kyalo Buwonzi ekisangibwa mu ggombolola y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana basobeddwa olwa bassentebe ababiri okukaayanira obukulembeze ekitadde ekitundu ku bunkenke nga buli omu agamba nti ye ssentebe w’ekyalo.

Ofiisi esooka ku kyalo Buwonzi

Ofiisi esooka ku kyalo Buwonzi

Ekyalo kino kiriko abatuuze abasoba mu 1200 wabula nga kati olutalo oluliwo be bassentebe ababiri okuli Were Grace Seera (NRM) wamu ne Abdul Katende amanyikiddwa nga Don owa Nup nga buli omu agamba nti ye nnannyini kyalo.

 

Kino kyongedde okukutulamu abatuuze ku kyalo kino ng’abawagizi ba Seera owa NRM balumiriza Katende okubatiisatiisa.

Weere agamba nti ye yawangula era y'alina sitampu

Weere agamba nti ye yawangula era y'alina sitampu

Kyokka bw’otuuka ku kyalo kino ofiisi zonna nzigule ng’omuntu atamanyi bigenda mu maaso asooke kwebuuza ani ssentebe omutuufu w’ayinza okuddukira.

 

Seera ne Don okutuuka okukaayanira obukulembeze kyavudde ku kubeera nti Seera baamulayiza nga 27 omwezi ogw’omunaana wabula ate ne Don ne bamulayiza nga 2 omwezi ogwa November nga kino kyatabula ekyalo.

 

Abatuuze nga bakulembeddwa Haji Ali Kambugu baagambye nti bo bakirizza nti Were baamulayiza era ne bamukwasa sitaampu okukkakkalabya emirimu gye.

Ofiisi ya Weere gye yaggulawo

Ofiisi ya Weere gye yaggulawo

Wabula Were ssentebe akaayana agambye nti ye ssentebe eyawangula nga ye nsonga lwaki baamukwasa sitampu.

 

Kyokka ye Don Katende naye agambye nti mu kulonda ye yawangula kyokka bwe yatuuka e Gombe nga erinnya lye likyuse bw’atyo n’addukira mu kakiiko k’ebyokulonda okukkakkana nga bamuddiza obuwanguzi bwe era nti ye ssentebe omutuufu.

Abdul naye agamba nti ye ssentebe omutuufu

Abdul naye agamba nti ye ssentebe omutuufu

Wabula, mu kwogerako ne Town Clerk wa diviizoni y’e Gombe ku ssimu Sulayiman Kasim, agambye nti mu gazeeti emanyi Abdul Katende nga ssentebe w’ekyalo nga Were bagezezzaako okumugamba akomyewo sitampu kyokka n’agaana.

Tags:
Amawulire
Ssentebe
Nansana
Kukaayana
Kyalo