Amawulire

Heedimaasita abadde agezaako okulemesa owa S6 okutuula ebigezo poliisi emukutte!

Omukulu w'essomero lya Link Star High School e Luweero, Godfrey Kabonge y'agambibwa nti yabadde agezaako okulemesa omuyizi okukola ekigezo ky'eddiini kyokka ne bamukwata.

Heedimaasita abadde agezaako okulemesa owa S6 okutuula ebigezo poliisi emukutte!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUKULU w'essomero agambibwa okugezaako okulemesa omuyizi wa S6 okutuula ebigezo, poliisi emukutte.

 

Omukulu w'essomero lya Link Star High School e Luweero, Godfrey Kabonge y'agambibwa nti yabadde agezaako okulemesa omuyizi okukola ekigezo ky'eddiini kyokka ne bamukwata.

 

E Ntinda poliisi ekutte abantu babiri ku bigambibwa nti baajingiridde n'okugezaako okuwaayo ebiwandiiko ebijingirire n'ekigendererwa eky’okubba ebigezo . Bano kuliko Augustine Tukei omuserikale wa poliisi e Nateete ne Lydia Mirembe omusomesa mu Kisenyi.

 

Kitegeezeddwa nti Mirembe yeefudde asindikiddwa okukuuma ebigezo n'alimba n'ekigendererwa eky'okubba ebigezo ate Tukei nti ne yeefuula looya wa UNEB n'ekigendererwa eky'okufera ssente n'okubbira abayizi abigezo.

 

Omwogezi w'ekitongole kya UNEB, Jennifer Kalule - Musamba, agambye nti okutwaliza awamu ebigezo bikyatambula bulungi era n'ayongera okulabula abo abalina ekigendererwa ky'okubba n'okukoppa ebigezo nti kaakubajjuutuka.

Tags:
Amawulire
Bibuuzo
Montana
Uche
Poliisi
Kukwata
Muyizi
Bigezo