Amawulire

Kkooti egenda kuwozesa omusajja agambibwa okutta abantu e Masaka n’abalyamu emitima mu lujjudde

KKOOTI Enkulu e Masaka ekakasizza okuwulira mu lujjudde omusango gw’omusajja agambibwa okutta abantu e Masaka n’abalyamu emitima.  

Kkooti egenda kuwozesa omusajja agambibwa okutta abantu e Masaka n’abalyamu emitima mu lujjudde
By: Peter Ssuuna, Journalist @New Vision

KKOOTI Enkulu e Masaka ekakasizza okuwulira mu lujjudde omusango gw’omusajja agambibwa okutta abantu e Masaka n’abalyamu emitima.  

 

Gusuubirwa okutandika okuwulirwa nga November 23, 2026 ku kisaawe ky’oku Ssaza e Masaka okwanukula omulanga gw’abantu ba balijjo abaagala awozesebwe nga bagamwegese nga bwe gwali ku Christopher Okello Onyum eyatta abaana ku ssomero e Ggaba.

Mujulizi Agenda Okuwozesebwa Mu Lujjudde.

Mujulizi Agenda Okuwozesebwa Mu Lujjudde.


Avunaanibwa ye Kulayisi Kamugisha amanyiddwa nga ‘Mujulizi’ ng’awerennemba n’ogw’obutemu. Kigambibwa nti yatta omukazi ku kyalo Mugamba mu ggombolola y’e Buwunga e Masaka n’amusalako omutwe nga n’okutuusa kati poliisi ekyatubidde nagwo.


Omusango guli ku fayiro nnamba AA/176/2026 nga gwakuwulirwa omulamuzi Vincent Wagona. Oluvannyuma lw’okwekenneenya, ekisaawe ky’oku Ssaza kyakakasiddwa okuba n’ebisaanyizo olukiiko lw’abalamuzi ba Kkooti Enkulu e Masaka abaakulembeddwa Prossy Katushabe n’amyuka omuwandiisi wa kkooti eno, Leo Karungi. 


Beegatiddwaako kkamisona wa poliisi, Moses Talemwa n’abeebyokwerinda abalala era Pookino Jude Muleke n’abawa olukusa okukikozesa.

 

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa kkooti, kyalaze nti, beetegefu okuwulira omusango guno nga munnamateeka w’omuwawaabirwa yalondeddwa dda kw’ossa abanaayambako kkooti okuwulira n’okutaputa obujulizi nga buweebwa.

 

Kkooti egamba nti ekigendererwa ky’okuwulira omusango guno mu lujjudde, kwe kutwala obuweereza bwa kkooti mu bantu n’okuwa omwagaanya abaakosebwa okugoberera ebigenda mu maaso mu buntu era n’okuwa obwenkanya obw’amangu awatali 8 Bukedde Mmande November 16, 2026 AMAWULIRE kutindigga ng’endo.

 

Bannamawulire bakkiriziddwa okukwata ebigenda mu maaso wabula baasabiddwa okukola amawulire mu bukugu. Abanajja okugugoberera, nabo baweereddwa ebiragiro okugoberera enteekateeka z’ebyokwerinda zonna.

Tags:
Amawulire
Kkooti
Masaka
Lujjudde
Musajja
Kuwoza