OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Abas Byakagaba asisinkanye abaduumira poliisi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’abawa ebiragiro kwe balina okutambuliza emirimu.

Byakagaba Ng'ayogera Eri Bannamawulire. Ku Kkono Ye Rusoke, Omwogezi Wa Poliisi Mu Ggwanga
Yalagidde abaserilae bonna abeekwata obutambi oba okwekubya ebifanaanyi ne babissa ku mitimbagano oba okugenda mu kukubaganya ebirowoozo okulimu okwekubiira okukikomya.
Yalangiridde enteekateeka mu poliisi omuli okukutulamu eggwanga zzooni ttaano nga zigendereddwaamu okunyweza ebyokwerinda.