Amawulire

Bannamateeka basoomoozezza ab'akakiiko k'eddembe ly'obuntu

EKITONGOLE ekigatta Bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society kisabye akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission okwongera amaanyi mu kulwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga erigenze lityoboolwa abantu ab’enjawulo.

Lillian Drabo (ku kkono) ng'ayogera eri Bannamawulire. Ku ddyo ye Ssali Babu
By: EMMANUEL SSEKAGGO, Journalist @New Vision

EKIBIINA ekigatta Bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society kisabye akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission okwongera amaanyi mu kulwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga erigenze lityoboolwa abantu ab’enjawulo.

Lillian Drabo (ku kkono) ng'ayogera eri Bannamawulire. Ku ddyo ye Ssali Babu

Lillian Drabo (ku kkono) ng'ayogera eri Bannamawulire. Ku ddyo ye Ssali Babu


Bino byogeddwa Ssaabawandiisi w’ekibiina kino Ssali Babu mu lukungaana lwa Bannamawulire lw’atuuziza ku kitebe ky’ekibiina kino ku Acacia Avenue mu Kampala n’agamba nti eggwanga lirimu ebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu akakiiko byekasaana okutunulamu.
Babu agambye nti ekisinga okwennyamiza ku kakiiko kano kwekuba nga Bannayuganda bazze bagendayo nga beekubira enduulu ku nsonga ez’enjawulo kyokka ensonga                                                                                                                        ne zikwatibwa kasoobo ng’abamu batuuka n’okuzijja mu enta.
Akubirizza Bannayuganda nti newankubadde embeera eri bweti, naye tebalina kuggwaam mmaanyi nga singa balaba omuntu yenna abamalako  eddembe lyabwe, baddukire mu mbuga z’amateeka bagezeeko okunoonya obwenkanya.


Lillian Drabo nga naye munnateeka agambye nti ensangi zino waliwo n’abantu abakwatibwa nebasukka essaawa 48 ezirambikiddwa mu mateeka nga tebanatwalibwa mu kkooti kyeyagambye nti kirina okukomezebwa kubanga tekikoma ku kumenya mateeka wabula kireetera n’abenganda z’oyo aba akwatiddwa okweraliikirira ennyo nga tebananyi muntu wabwe gyali ekintu ekitali kituufu.

Tags: