Amawulire

Aba Youth Wealth Creation bongedde okwenyweza mu SACCO ne basaba pulezidenti ayongere okubasindikamu

Aba Youth Wealth Creation bongedde okwenyweza mu SACCO ne basaba pulezidenti ayongere okubasindikamu 

Faiza Ndase ng'ayogera eri abantu abaganyuddwa mu nteekateeka eno
By: Patrick Kibirango, Journalist @New Vision

Aba Youth Wealth Creation bongedde okwenyweza mu SACCO ne basaba pulezidenti ayongere okubasindiika.
BAMMEMBA ba Youth Wealth Creation nga be bantu abakola emirimu gya wansi abaayambibwako State house okuyita mu avunaanyizibwa ku maka g’obwapulezidenti Jane Barekye, beebazizza pulezidenti Yoweri Museveni olw’okuddamu nalonda Barekye ng’avunaanyizibwa ku maka gano nga bagamba nti ng’abantu ba wansi okuberaawo kwe kubagasa nnyo.

Faisal Ndase ng'ayogera eriabantu abaganyuddwa mu Youth Wealth Creation

Faisal Ndase ng'ayogera eriabantu abaganyuddwa mu Youth Wealth Creation


Bino okubyogera babadde Nakulabye bwe babadde bakungaanye okusomesebwa nkwata y'ensimbi n'entambuza ya SACCO, kubanga wetwogerera beekozeemu SACCO gye batumye Lubaga Youth Wealth Creation SACCO, mwebagenda okuyita okweterekera n’okwewola bakulakulanye bizinensi zabwe.
Ssentebe wabwe mu SACCO eno Shifah Akoragye, yeebazizza Barekye olw’okubeera nga naye ate ekyeesiga Faisal Ndase. Era n’asaba puleziddenti abateere ssente mu SACCO yabwe basobole okweewola nga bamufuna mpola basitule mbeera zabwe.

Faisal Ndase ng'ayogera eriabantu abaganyuddwa mu Youth Wealth Creation

Faisal Ndase ng'ayogera eriabantu abaganyuddwa mu Youth Wealth Creation


Nasser Jjumba okuva mu Banka enkulu nga musomesa mu byenfuna, Yasomesezza abantu bano nti bwebaba beewola ssente beewole ze basobola okuzzaayo era n’abawabula okukuuma ebiwandiiko bya zibizinensi zabwe kubanga bijja okubayamba mu kufuna looni n’okusobola okusasula emisolo obulungi.

Omu ku baganyuddwa mu nkola ya Wealth Creation ng'annyonnyola

Omu ku baganyuddwa mu nkola ya Wealth Creation ng'annyonnyola


Faisal Ndase nga ye kodineeta wa Youth Wealth Creation naye yeebazizza katonda olw’okudamu okulondebwa kwa Barekye, era ba memba nabategezezza nti eby’obufuzi bya ggwa kati kukola nga ye nsonga lwaki yasazeewo okubawa omusomo guno babangulwe mu nzirukanya ya SACCO olwensonga okwegatta  kkubo kulu okulakulaba bongerwa okuyambibwa gavumenti nga bali wamu nga SACCO.
Tags: