Omusajja avudde mu mbeera n'atta mukazi we naye ne yetta.
Poliisi emirambo gyombi egitutte mu ggwanika ly'e ddwaaliro e Bugiri ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.
Kigambibwa nti bano bombi baludde nga balina obutakaanya era g'ensonga zaabwe zaatuuka ne ku poliisi y'e Busowe ebadde egezaako okuzigonjoola.
Kitegeezeddwa nti bw'amaze okutta mukazi we, naye ne yetta era nga mu kiseera kino, poliisi eri mu kunoonyereza ng'omwogezi waayo mu Busoga East , Micheal Kasadha, bw'annyonnyola.