PULEZIDENTI wa Tanzania, Dr. Samia Suluhu Hassan ali ku bugenyi bw’ennaku ebbiri mu Uganda nga yayitiddwa mukulu munne, Yoweri Museveni owa Uganda.
Suluhu yatuuse mu Uganda eggulo ku Lwokusatu nga ku kisaawe yayaniriziddwa omumyuka owookusatu owa Katikkiro wa Uganda, Rukia Nakadama era eyamukulembeddemu okumutwala mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe.
Museveni ku bubaka bwe yatadde ku X (eyali twitter) yategeezezza nti, mu akafubo ke yabaddemu ne Pulezidenti Suluhu, baayogedde ku nsonga ezikwata ku nkolagana y’amawanga gombi, okugaziya akatale awamu n’ebintu ebirala ebiyamba entambula y’ebintu n’abantu awatali kutaataaganyizibwa.
Abakulembeze bombi bakkiriziganyizza okwanguyaako okumaliriza omulimu gw’okuzimba omudumu gw’amafuta ogwa East Africa oguli ku bitundu 93.9 ku 100 n’okwongera amaanyi mu kuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka olugatta amawanga gombi. Baayogedde ne ku ngeri y’okutumbulamu ebyenfuna, okufuula Tanzania ng’entabiro y’ebyamafuta mu kitundu ky’Obuvanjuba bwa Africa n’okuggyawo emiziziko gy’ebyobusuubuzi.
Museveni ye yasooka okukyala e Tanzania mu August w’omwaka guno ne bassa omukono ku ndagaano y’okuzimba entabiro y’ebyamafuta e Tanga.
Ekifo kino we bagenda okusengejjera amafuta agava e Hoima mu Uganda ng’olugendo lwa kkiromita 1,443