Amawulire

Asabye Gavt. ku mbeera mu makomera

EYALI ssentebe wa NRM atwala Masuliita, Ssaalongo Muwada Namwanja, asabye Gavumenti okutereeza amakomera g’agamba nti gasusseemu omujjuzo ate n’ebikozesebwa mu bulamu bw’abasibe obwa bulijjo tebimala.

Muwada Namwanja (ku ddyo) ng’ayogera.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EYALI ssentebe wa NRM atwala Masuliita, Ssaalongo Muwada Namwanja, asabye Gavumenti okutereeza amakomera g’agamba nti gasusseemu omujjuzo ate n’ebikozesebwa mu bulamu bw’abasibe obwa bulijjo tebimala.
Bino yabyogedde ku mukolo gw’okwebaza Katonda okumusumulula n’amuggya mu kkomera gye yasibwa gye buvuddeko.

Yagambye nti, akaseera ke yamaze mu kkomera kaamuyigirizza ebintu bingi naddala engeri emikwano bwe gyefuula ng’oli mu mbeera embi. Omukolo gwabaddewo ku Ssande mu maka ga kitaawe, omu ku baalwana mu lutalo olwaleeta Gavumenti ya NRM, omugenzi Hajj Edirisa Mubiru ku kyalo Wanjeyo e Masuuliita.
Gwetabiddwaako abanene okuli ab’ettwale ly’e Masuuliita abaakiikiriddwa Sheikh Asadu Jjemba, ssentebe Khasim Nsubuga n’abantu abalala.
Gye buvuddeko Muwada yatabuka ne mukamaawe Hajji Yunus Kakande n’amuggulako emisango n’asibwa.
Yagambye nti, abantu ababadde bakolagana bwe batabuka nga basoma eddiini emu, kyandibadde kirungi abakulembeze mu ddiini ne babatabaganya kyokka ku nsonga zaabwe bannaddiini baasirika busirisi. Abasiraamu baasuubizza okutabaganyanga abeemikwano nga basoowaganye ne bagamba nti ensonga za Muwada ne Kakande baazitegeera kikeerezi.
Muwada yasabye abantu okukola obutaweera beggye mu bwavu n’okuwuliriza omulanga gwa Katikkiro wa Buganda ku kulima emmwaanyi. Yasabye abalina emikwano bafube okuginyweza n’okuba abalambulukufu kubanga omukwano gusinga ebyobugagga

Tags: