KKOOTI esookerwako e Kawempe ng'ekubirizibwa omulamuzi Doreen Ainembabazi ayongezzaayo okuwulira okusaba kw'okweyimirira kwa omusirikale Tukei Augustine ne Mirembe Lydia abavunaanibwa okugingirira ebiwandiiko bya UNEB ne kigendererwa ekyokwagala okukoppera abayizzi ebigezo.
Kino kidiridde omuwaabi wa gavumenti mu musango guno Bruce Twongirwe okutegeeza omulamuzi nti empapula z'eddwaliro ezesigamwako Tuke okweyimirirwa okuva mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okuba engirire n'assaako n'abantu bebaaleeta okubeeyimiria obutaba na bisaanyizo bya kkooti
Omuwaabi wa gavumenti Bruce Twongirwe ayongedde okukalambira kukuteebwa kw'ababiri bano nga ategeezezza nti omusango gwanagomola basibwe emyaka musanvu nga amateeka bwegalagira.
Omulamuzi Doreen Ainembabazi wano wasinzidde n'asindika abasibe okudizibwayo e Luzira okutuuka ng'ennaku z'omwezi 4 omwezi ogujja okwongera okutunulira ensonga eno.