Amawulire

Munnamateeka Denis Bugaya ayanjuddwa ku bwa Katikkiro bw'ekika ky'Emmamba

EKIKA ky'emmamba kyanjudde Katikkiro waakyo omuggya, Denis Bugaya mu Lukiiko lw'Abataka abakulu b'ebika mu Buganda olutudde olweero e Bulange- Mmengo   

mukubirizza w'Olukiiko lw'abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba ng'akwasa Bugaya ekibbo ekirimu emmwanyi
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

EKIKA ky'emmamba kyanjudde Katikkiro waakyo omuggya, Denis Bugaya mu Lukiiko lw'Abataka abakulu b'ebika mu Buganda olutudde olweero e Bulange- Mmengo

Bugaya ng'aloza ku mwenge gweyatwalidde Abataka

Bugaya ng'aloza ku mwenge gweyatwalidde Abataka

Bwabadde ayanirizza Katikkiro Bugaya, Omukubirizza w'Olukiiko lw'abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba ng'era y'akulira ekika ky'ekkobe akubirizza ebika okufuba okukulakulanya obutaka bwaabwe, ebika byongere okuterera.

Omukubirizza w'Olukiiko lw'Abataka abakulu b'ebika , Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba ng'ayogera

Omukubirizza w'Olukiiko lw'Abataka abakulu b'ebika , Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba ng'ayogera

Omukulu w'ekika ky'emmamba, Omutaka Gabunga Mubiru Ziikwa V ku mukolo guno atambudde ne Bazzukkulu be ababaddeko Bakatikkiro basatu balamba okubadde Dr. Adam Kimala Nsubuga, Omutaka Kagenda Luyombo Mulindwa n'eyakawummula Kyobe Kaberenge.

Munnamateeka Denis Bugaya nga kati ye Katikkiro w'ekika ky'emmamba ng'ayogera mu Lukiiko lw'Abataka abakulu b'ebika oluvanyuma lw'okwanjulwayo Omutaka Gabunga Mubiru Ziikwa V. Ku ddyo Ye Mumyuka owookubiri owa Katikkiro w'ekika ky'emmamba, Gabriel Kabonge

 Gabunga agambye abawereeza bonna mu bika basaanye okutwala kino ng'ekyokulabirako nti bwebawummula obuwereeza basigale nga bakolagana naabo ababaddidde mu bigere.

Denis Bugaya ayanjuddwa ku bukulu bw'ekika ky'Emmamba

Denis Bugaya ayanjuddwa ku bukulu bw'ekika ky'Emmamba

Ye Katikkiro Bugaya yeebazizza Omutaka Gabunga olw'obwesige bwamutaddemu n'awera okuwereeza obuteebalira ekika kye ate n'essiga ly'Abataka.

Obuvunanyizibwa buno Bugaya bwamukwasibwa August 28,2026 era abulidde Abataka ebyo byeyakasobola okukolawo wamu n'olukiiko olwamuweebwa Gabunga.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro w'ekika kino Gabriel Kabonge ng'ono yaliko omwami w'essaza lye Mawokota naye ayanjuddwa mu lukiko lw'Abataka.

Tags: