Bya Henry Nsubuga
Omukulu w'ekika ky'Engo, Jjajja Henry Keeya Muteesaasira Namuyimba II akoze ekyafaayo mu Buganda bw’alangiridde nga bw’alonze Katikkiro w’ekika kino omukyala.
Okusinziira ku Muteesaasira, ono ye mukyala asookedde ddala okulya obwa Katikkiro bw’ekika mu Buganda, bukyanga bika bya Baganda bibangibwawo.
Winnie Meldon Nakyejwe Mabiriizi yalondeddwa okubeera Katikkiro w’ekika ky’Engo, ng’ono Muteesaasira agambye nti mukyala mukozi awagidde emirimu gy’ekika okumala ebbanga nga teyeetiiririra.
Ku nsonga lwaki yasazeewo kulonda mukyala, Muteesaasira agambye nti mu Ngo temuli nkazi temuli nsajja buli evaayo esaabala masajja.
Ku Kkono, Omukulu W'ekika Ky'engo, Henry Keeya Muteesaasira, Winnie Meldon Mabiriizi Eyalondeddwa Okubeera Katikkiro W'ekika Ky'engo, Omukulu W'ekika Ky'engeye, N’omutaka Sheba Kakande Kasujja
Jjajja Muteesaasira okulangirira kuno yakukoledde ku kyalo Nassuuti mu maka musajja we, Wilson Mukiibi Muzzanganda bwe yabadde akoze akabaga k’abaana be omukaaga ab’amaze emisomo gya ddiguli okuva mu yunivasite ez’enjawulo.
Ng’ayogerako ne Bukedde FaMa leediyo Embuutikizi, Nakyejwe asiimye obukulu obumuweereddwa n’agamba nti kirungi okulaba nga Jjajja Muteesaasira n’abakyala abalengedde n’abalabamu ensa ezisaanidde okuweereza mu bukulu obw’ekika ekyo.
Ssekiboobo, Elijah Boogere Lubanga Mulembya mu kwogera ku nsonga eno agambye nti Omukulu w’ekika abeera muntu mukulu nnyo nga tayinza kumala gafubutukira nsonga ng’okulangirira Nakyejwe, omukyala agenda okubeera Katikkiro w’ekika asoose alabika nga yasoose kwebuuza, nga tekirina bwe kikontana na nnono na buwangwa bwa Buganda.
“Tulina ebintu bingi nnyo ebikyuse ku mulembe guno Omutebi. Okugenza nze nnali siwulirangako wadde okulaba omukyala nga mwami wa ggombolola oba essaza, naye kibaddewo mu Buganda, Kabaka mu mulembe guno tasosola bantu olw’ekikula kyabwe, bonna abasembezza n’abateeka mu bifo eby’enkizo,” Ssekiboobo bwe yagambye.
Nakyejwe ye nnamwandu w’eyali omugagga w’e Kampala, Godfrey Mabiriizi eyafa mu 2014.