KCCA eggadde amayumba 70 n'omusobyo mu Kawempe lwa butaba na kaabuyonjo
Mar 03, 2023
KCCA eggaddewo amayumba mu Kawempe agatalina kaabuyonjo ate ng’abazirina zasangiddwa zijjudde ng’abapangisa beeyamba mu myala.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
Bya Moses Lemisa
KCCA eggaddewo amayumba mu Kawempe agatalina kaabuyonjo ate ng’abazirina zasangiddwa zijjudde ng’abapangisa beeyamba mu myala.
Ekikwekweto kino kikoleddwa abasawo b’e Kawempe ku ggombolola abaakwataganye ne LC z’omu bitundu.
Mmuluka gwa makerere III baggaddewo amayumba okuli ag’omugenzi Bugingo , aga Musa Ntege n’amalala nga kaabuyonjo baazisanze zaajula dda ng’ezimu baaziteekako ebituli ziyiiwa mu myala ng’abamu ku bapangisa baagambye nti oluusi be beesondamu ssente z’okunuuna mu kaabuyonjo .
Paul Kibuuka Ng'alaga Emu Ku Kaabuyonjo Eyajjula Naye Nga Bagikozesa.
Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni agambye nti bazze balabula bannannyini mayumba okufaayo okunuuna mu kaabuyonjo ne beerema nga kati abapangisa beeyambira mu buveera ne bakanyuga mu nguudo ne mabaati , mu myala ekiyinza okuvaako endwadde eziva ku bucaafu.
Omupangisa Omukazi Gwe Balumiriza Okusaasanya Obucafu Nga Yeewoozaako .
Yagasseeko nti etteeka ligagamba omuntu alina kaabuyonjo ejjudde aweebwa ennaku 7 okugitereeza oba sikyo okuggalwawo ku luno kyayitiridde nga baabadde balina okuziggalawo mu bwangu kuba kaabuyonjo ezisinga zajjula nga n’ekituli tekikyalabika naye zikyakozesebwa .
Catherine Namwanje omu ku bavunaanyizibwa ku by’obulamu e Kawempe yagambye nti ekikwekweto kikyagenda mu maaso nga yawadde abapangisa amagezi okulemera ku bannannyini mayumba okunuuna mu kaabuyonjo bw’ekiba kisoboka bagaane okubasasula lenti.
No Comment