Enkuba eyafudembye e Kyankwazi erese amayumba 20 ku ttaka
Apr 18, 2023
Abatuuze ku byalo 3 okuli Kyerere North, Kiyuuni Central LC 1, ne Kyerere East, mu ggombolola y’e Gayaza mu Kyankwanzi bali mu kiyongobero

NewVision Reporter
@NewVision
Abatuuze ku byalo 3 okuli Kyerere North, Kiyuuni Central LC 1, ne Kyerere East, mu ggombolola y’e Gayaza mu Kyankwanzi bali mu kiyongobero olwa nnamutikwa w’enkuba eyafudembye ku Lwomukaaga okumala essaawa eziwerako ng’alimu ne kibuyaga, okukkakkana ng’amayumba agakunukkiriza mu 20 gali ku ttaka.
Bano Baabadde Mu Kusoberwa Olw'ennyumba Yaabwe Okugwa
Ssentebe w’e Gayaza, Leosan Ssebalunzi yategeezezza nti embeera eno yavudde ku ky’okuba nti emiti egyali gikwata empewo gyasendebwa abasajja Linda Aronda abaabagobaganya ku ttaka, nga mu kiseera kino waliwo ezaagudde ku ttaka, endala tezaasigazza busolya.
Ssebalunzi yayongeddeko nti abaana baakoseddwa mu mbeera eno, nga waliwo babiri abaakubiddwa bbulooka, okwabadde n’ayonka, nga mu kiseera kino bali mu mbeera mbi.
Yawanjagidde gavumenti ebadduukirire, naddala ssaabaminisita Robinah Nabbanja, ennyumba z’abatuuze zisobole okuzzibwawo.
Ennyumba Endala Eyagudde.
Fred Ssebalwanyi, omutuuze wa Kyerere North yalaajanye olw’ennyumba ye eyaweddewo olwa kibuyaga, n’asaba ne gavumenti ebataase ku Linda Aronda abagoba ku ttaka lyabwe, kubanga bo bamumanyi nga muntu wa bulijjo, kyokka ettaka lyabwe liriko amagye ga gavumenti.
Teopista Nabacwa, alina abaana babiri yategeezezza nti ennyumba ye okugwa kyamukubye encukwe, kubanga abeera yekka, ng’ate omu ku baana be tali bulungi, olwa bbulooka okumukuba, nga n’ettaka we yali alimira lyasendebwa.
Abatuuze baategeezezza nti okuva Linda Aronda, nnamwandu w’omugenzi Aronda Nyakairima eyali minisita w’ensonga z’omunda lwe yatandika okusenda ennimiro za batuuze ku byalo 10 mu ggombolola y’e Gayaza, kibuyaga azze atikkula obusolya bwa mayumba ga batuuze olw’emiti egyasendebwa, kyokka ku mulundi guno kyayitiridde, nga mu kiseera kino bangi tebalina waakusula, olw’enkuba okwonooneramu n’ebikunta.
No Comment