Ab'Ekigo ky’e Ggaba banoonya obuwumbi 2 n'ekitundu ez’ekizimbe eky’ekijjukizo ky’emyaka 75
May 22, 2023
BWANNAMUKULU w'Ekigo kya Karooli Lwanga Ggaba, Rev. Fr. Charles Ssengendo asabye Abakristu okukolaganira awamu ne gavumenti okusobola okukulaakulanya Eklezia.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
Bya Ponsiano Nsimbi
BWANNAMUKULU w'Ekigo kya Karooli Lwanga Ggaba, Rev. Fr. Charles Ssengendo asabye Abakristu okukolaganira awamu ne gavumenti okusobola okukulaakulanya Eklezia.
Bino abyogeredde ku mukolo ogw'okutema evvuunike ly'okuzimba ekizimbe eky'e by'obusuubuzi eky'Ekisomesa kya St.John Paul II ku mwalo gw'e Ggaba, ekya Ggaba Development Centre, nga kino kyakumalawo obuwumbi 2 n'ekitundu.
Ekizimbe Ekigenda Okuzimbibwa Bwekinaafaanana Nga Kiwedde
Fr. Ssengendo yategeezezza nti kikulu nnyo Abakristu okukolaganira awamu ne gavumenti mu nsonga z'okwekulaakulanya n'asaba buli muntu okwenyigira obutereevu mu nteekateeka ez'okuzimba ekizimbe kino awatali kusosola mu ddiini, myaka oba mawanga kubanga ekigendererwa kyakyo kya kuyamba bantu bonna mu kitundu kino.
Shadrack Nzeire Kaguta, muto wa pulezidenti Museveni, akulira ekibiina kya Revolutionary Guard era ssentebe wa NRM owa disitulikiti y'e Kiruhura eyamukiikiridde yasabye abantu okukomya enjawukana z'amaddiini n'amawanga ku lw'enkulaakulaana 'nagamba nti bino tebirina kye byongera ku nkulakaulaana ya ggwanga okuggyako okwawulayawula mu bantu n'okuleeta entalo.
Omutaka Nadduli Kibbale Ku Kkono Omu Ku Beetabye Ku Mukolo.
Ono yawaddeyo obukadde 25 okuwagira enteekateeka eno,o mutaka Nadduli Kibale obukadde 5 n'abalala era omukolo gwagenze okuggwa ng'obukade obusoba mu 40 bwe busondeddwa.
Fulgensio Kintu, Ssaabkristu w'Ekigo ky'e Ggaba yagambye nti ekizimbe kino eky'e myaliro ena kyakubeerako eddwaaliro, essomero, ekisenge ekiteesebwamu, Gym, amaduuka n'ebirala ebigenderwaddwaamu okuyamba abantu b'omu kitundu kino kyonna.
Yagambye nti kino kisuubirwa okubeera nga kiwede mu myaka etaano era nga kye kinaaba ekirabo ky'Ekigo kyabwe nga kijaguza emyaka 75 bukya kitandikibwawo.
Simon Peter Ssebuliba, omusomesa w'ekisomesa eyakwasibwa omulimu gw'okukirabirira yasabye abantu bonna okuwagira omulimu guno gw'agamba nti gwakwongera ne ku mirimu mu kitundu naddala mu bavubuka.
No Comment