Omubaka Nambooze alumbye abasimbira ensonga z'ekibira ekkuuli

OMUBAKA we kibuga Mukono Betty Bakireke Nambooze avuddeyo n'ayambalira abo abavuddeyo okumusibira ekkuuli ku nsonga z’ekibuga Mukono okweza ekibira kya Namyoya forest Reserve n'ategeeza nga bano bwebakikoza okutya okubakwata.

Omubaka Nambooze alumbye abasimbira ensonga z'ekibira ekkuuli
By Eric Yiga
Journalists @New Vision

OMUBAKA we kibuga Mukono Betty Bakireke Nambooze avuddeyo n'ayambalira abo abavuddeyo okumusibira ekkuuli ku nsonga z’ekibuga Mukono okweza ekibira kya Namyoya forest Reserve n'ategeeza nga bano bwebakikoza okutya okubakwata.

Nambooze agamba abantu bano ye bagamba nti abamu balinako zi plot basazeewo okukozesa abamu ku banabyabbufuzi bakuziza ate okulwanyisa enteenteeka eno, wabula n'alayira nga bwatagenda kutisibwatisibwa era bwatyo n'asaba banna Mukono okuwegatako ku nsonga okulaba nga gigusa.

Ono agamba nti ebibira bingi Mukono bisanyizidwawo nga biweebwa bamusiga nsimbi abagwiira , nge kiseera kituuse Namyoya ekitundu ku ye aweebwe bamusiga nsimbi bana Mukono benyini, era wano anokoddeyo ba Muzagganda, Godfery Kyeswa owa Mukono Bakery bagambye nti bakozesa abantu bangi kyokka bizinesi zaabwe ziri wakati mu kibuga ekintu ekyobulabe ate nga nabo kibanyiga.

Ze 3(1)

Ze 3(1)

Ekibira ekyogerako kigatta ekibuga Mukono ne Kyampisi wabula ng’omubaka Nambooze agamba nti baagala bawebweko ekitundu  kimu kyakuunaate ebisatu byakuuna bikumibwe butiribiri  babereko ebintu ebyenjawulo bye bakolelako omuli okuzimbako Service center, ebifo ebisomesa abaana ebyemikono, ekifo webasegegyera kazambi ssaako n'ekyuma ekyokya ebintu ebiva mu ddwaliro, pads ssaako ne pampers, kyokka abamu ku bakansala kye bawakanya nga bagamba nti omubaka alina byayisawo.