Yiga engeri y’okulwanyisa endwadde ezirumba kaamulali oleme kufiirwa

KAAMULALI omunene atakaawa kimu ku birime ebyegulidde erinnya ku katale olw’okwettanirwa ennyo abalyi kumpi buli awali ekirabo ky’emmere ne mu maka.

Yiga engeri y’okulwanyisa endwadde ezirumba kaamulali oleme kufiirwa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Kaamulali ng’abaze bulungi mu yiika emu osobola okukungulamu obusero obusoba mu 300.  Wabula abalimi bangi kaamulali ono tebamanyi nnima  ye ey’omulembe ekibaviirako obutamufunamu.

 

Okusimba Kaamulali

 

Ensigo sooka kuzisimba mu nnassale. Mu yiika weetaaga wakati wa gulaamu 150 ne gulaamu 250 ez’obusigo ate kirungi beedi ogikole mu kifo w’oyokezza enkoomi kuba obumu ku  bulwadde obwandisse obulokwa obuto , n’ebiwuka eby’obulabe ebimu biba bifudde. Simbuliza nga ziri wakati we nnaku 45 ne 60.

 

Muwe amabanga amalungi. Ku kaamulali ono gasaaana kuba ffuuti 2 ku 2 oba 2 ku 3. Okuva lw’omusimbulizza otandika okumukungula ku myezi esatu okutuuka ku ena. Nga alabiriddwa bulungi asobola okuwangaala okutuuka ku myaka ebiri.

 

Ebibaza kaamulali

 

Ettaka bwe litabeera ggimu osobola okukozesa ebigimusa  ebiteekebwa mu ttaka ebirimu ekiriisa kya Nitrogen nga NPK oba oyinza okukozesa ebifuuyirwa ku makoola nga Cropmax, Booster, Bayfolan n’ebirala ng’ogoberera ebipimo ebikuteereddwaako bakugu.

 

Oluvannyuma lw’amakungula agokubiri kirungi okumusalira n’aleeta obutabi obuto kuba kino kimuyamba okubala obulungi.

 

Okusoomoza

 

Kaamulali ono alumbibwa nnyo obuwuka obulinga obuwojjolo obumunuunamu amazzi n’obuwuka obuyitibwa obuyiso obubiika amagi ku bibala ebito bwe gaalula ne muvaamu obuvunyu obuyingira mu bibala ne bubyonoona. Buno bulwanyise nga ofuuyira n’eddagala Alpher-Cypermethrine oba Dimethoate ng’ogoberera ebipimo abakugu bye bakulagira.

 

Waliwo amatemi agonoona endokwa mu beedi n’ezo ezisimbuliziddwa nga gaziryako emitwe ne zitasobola kukula. Kozesa ‘Sevin Dust’ bwe gaba gakulumbye naye kyandisaanye ofuuyire nga tegannalumba kuba bwe gamala okumutemako emitwe enkula ye egootaanamu.

 

Obuwuka obulala bwe bwo obulya emirandira oba Root Mealy Bugs era bubeera bwa langi ya pinki. Ebikolo ebikwatiddwa tebibala bulungi. Bulwanyise ng’okozesa eddagala lya Chlorophyrifos ow’amazzi ofuuyire ku bikolo gayingire mu ttaka bujja kufiirayo.

 

Obulwadde:

 

Alumbibwa ebigenge naye bw’ofuuyira obulungi ebiwuka buno oba obuwonye kuba bye bibusaasaanya. Waliwo obulwadde obuvunza endokwa naye buno okubutangira kendeeza ku bisiikirize mu kifo we ziri n’amazzi oba okufukirira.

 

Obulwadde bwa kiwotoka obuleetera kaamulali okukala bwewale nga tokozesa bikozesebwa nga enkumbi n’ebiso ebivudde mu misiri gy’oteekakasa ate ebikolo ebikwatiddwa bikuule obyokye mangu nga tebunnasaasaana.

 

Bumala mu kifo emyaka musanvu nga buzze kale bwetaaga okwewala ennyo. Ate obwo obwengeza ebibala ebito oluusi n’okubivunza bwa Anthracnose bwewale ng’okozesa Mancozeb oba Propineb.