Ebirina okugobererwa ku ndabirwamu za ttakisi

YING. Emmanuel Aleti owa poliisi eyeekebejja ebidduka e Naguru agamba takisi yeetooloddwa endabirwamu okuva mu maaso okutuuka emabega era buli emu erina omulimu gwayo.

Ebirina okugobererwa ku ndabirwamu za ttakisi
By Samuel Balagadde
Journalists @New Vision
#Ttakisi #Ndabirwamu #Kugoberera #Mmotoka 1212

YING. Emmanuel Aleti owa poliisi eyeekebejja ebidduka e Naguru agamba takisi yeetooloddwa endabirwamu okuva mu maaso okutuuka emabega era buli emu erina omulimu gwayo.

Endabirwamu ey’omu maaso eteekeddwa okuba nga teriimu lwatika, nga tetimbiddwako bintu kuba bino bitaataaganya amaaso ga ddereeva naddala mu biseera by’akasana.

Endabirwamu ya ttakisi ey'omu maaso terina kubaamu lwatika lwonna.

Endabirwamu ya ttakisi ey'omu maaso terina kubaamu lwatika lwonna.

Endabirwamu z’omu mbiriizi zikola nga madirisa ziteekwa okuba nga ziseeseetuka okusobozesa abasaabaze okufuna empewo emala n’okutangira okusaasaana kw’endwadde mu basaabaze.

Endabirwamu y’emabega eteekwa okuba ng’ewandiikiddwaako ekigambo kya Emergency Exit.

Kino kitegeeza nti ssinga abasaabaze bafuna obuzibu obutabasobozesa kuyita mu maaso, guno gwe bakozesa.

Endabirwamu y’emabega yakolebwa nga eyiika buyiisi ssinga eba ekooneddwa. Endabirwamu zonna tezirina kuba nga zirimu tinti. Omuntu ali wabweru alina okuba ng’alaba bulungi ebiri munda.