ENNAKU zino olw’embeera y’ebyenfuna, abantu abamu beesanga ng’emmotoka zaabwe bazituuzizza ne batambulira mu ttakisi oba okukozesa bodaboda.
Musa Kisakye, makanika mu Ndeeba Auto Gurage agamba nti tekigasa mmotoka kugitereka bbanga ddene nga tevugibwa olw’ensonga nti ereetera ebimu ku byuma byayo okuli emisipi n’ebirala okwonooneka.
Bbaatule zoonooneka emmotoka bw’etwala ebbanga eddene nga tetambula. David Lumu, agamba nti buli mmotoka bw’etuula kivaako amafuta agasigalamu okwonooneka ekireetera ttanka okwonooneka ng’amafuta gakutte. Bw’ogavugiramu goonoona ne yingini.
Ebiziyiza ebisinga we bikolebwa nga bikwasiddwa ku byuma era nga emmotoka bw’ebeera tetambula kivaako ebyuma bino okutalagga. Okugeza ‘Brake master cylinder’ eyinza okumenyeka ne kivaako ebiziyiza okulemererwa okusiba.
Emipiira buli we gituula mu kifo kimu ekigiviirako okwonooneka.