Bataddewo omukutu okwanguyiza abantu okufuna nnamba ppuleeti

GAVUMENTI etaddewo omukutu okuyamba abantu okufuna nnamba puleeti z’emmotoka zaabwe mu budde.

Bataddewo omukutu okwanguyiza abantu okufuna nnamba ppuleeti
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Amawulire #nnamba puleeti #Motor Vehicles Registration Dashboard

GAVUMENTI etaddewo omukutu okuyamba abantu okufuna nnamba puleeti z’emmotoka zaabwe mu budde.

 

Minisitule y’ebyentabula n’enguudo yataddewo omukutu ogwatuumiddwa Motor Vehicles Registration Dashboard nga buli ayingiza ekidduka kw’agenda okuyita okutuusa okwemulugunya ssinga asanga obuzibu mu kufuna nnamba ppuleeti.

Nnamba Puleeti.

Nnamba Puleeti.

 

Kino kiddiridde abayingiza emmotoka mu ggwanga okwemulugunya ku bagaba nnamba Ppuleeti okubakandaaliriza ate nga baba basasudde ne kibaviirako okusaasaanya ssente eziwera olwa mmotoka okulwa mu bondi Winstone Katushabe avunaanyizibwa ku mateeka g’ebidduka ku nguudo n’okulwanyisa obubenje ku nguudo mu kutongoza omukutu guno ku kitebe kya minisitule.

 

Yagambye nti ebitongole byonna ebikwatibwako ku kuwandiisa emmotoka okutuuka okufuna nnamba puleeti bigenda kuba nga bivunaanibwa ssinga wabaawo obuzibu.

 

Muno omuli ba clearing agent, URA nga abakung’aanya omusolo, UNBS ab'omu omitindo gw’emmotoka, kkampuni ekola ku nnamba za digital, minisitule y'ebyentambula, bannannyini mmotoka. Omukutu gugenda kuyambako okumanya wa empapula we zaasikattidde.

 

Katushabe alaze nga emmotoka yonna oluvannyuma lw’okusasula emisolo gyonna nga bw’eterina kusukka ssaawa 8 nga tennaweebwa nnamba.