By’olina okwekebejja ssinga emmotoka egaana okusimbula

EMMOTOKA osobola okugiteekamu ekisumuluzo okugitandika n’esaza bulungi kyokka n’eremererwa okuva mu kifo olw’ensonga ezitali zimu nga kino kitaataaganya entambula zaayo.

By’olina okwekebejja ssinga emmotoka egaana okusimbula
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision
#Amawulire #Ggiya #S.G Garage #Luzira #Fuel Pump #Kwonooneka #Mmotoka

EMMOTOKA osobola okugiteekamu ekisumuluzo okugitandika n’esaza bulungi kyokka n’eremererwa okuva mu kifo olw’ensonga ezitali zimu nga kino kitaataaganya entambula zaayo.

 

Abas Nsubuga Makanika ku S.G Garage e Luzira agamba nti ensonga nnyingi eziremesa emmotoka okutandika nga n’ekisinga kiva ku kubuusa maaso ebyo emmotoka by’eba ekubanja.

Makanika Nga Yeekebejja Emmotoka.

Makanika Nga Yeekebejja Emmotoka.

By'olina okwekebejja ssinga mmotoka yo egaana okutandika

Amafuta okuggwaamu: Buli emmotoka lw’eggwaamu amafuta kitegeeza nti ebeera tekyasobola kugatambuza mu byuma ebyo ebigeetaaga nga kino kitegeeza nti emmotoka esobola okukkiriza okusaza naye nga tesobola kutambula kuva mu kifo. Olina okukuumira amaaso ku Dashboard omanye gegi ky’egamba.

 

Fuel Pump okwonooneka: Eno y’evunaanyizibwa ku kukuba amafuta okugatuusa ku byuma ebigeetaaga omuli ne yingini, eno singa ebeera efunye obuzibu kitegeeza nti amafuta tegasobola kutambula kutuuka mu bitundu ebyo nebwegaba nga amafuta mwegali mu mmotoka.

 

Main Fuse; Eno y’evunaanyizibwa ku kugaba omuliro mu mmotoka singa ebeera ekoleezeddwa kyokka singa efuna obuzibu bwonna okugeza nga okukutukako waya yonna nga omuliro tegukyajja kiremesa emmotoka okutandika. Kyokka kano ka mugaso nnyo kubanga singa kafa n’engombe z’emmotoka zibeera tezikyakola.

 

Coil z’emmotoka; zino zituula mu pulaga era nga zikozesa sisitiimu y’amasannyalaze, zibeeramu waya ezivunaanyizibwa ku kugabira pulaga omuliro. Singa ziggweerera kiremesa emmotoka okutandika wadde ebeera esobola okusaza.

 

Sisitimu ya Giya; Ssinga emmotoka egaana okuyingiza ggiya kisobola okugiremesa okutambula kubanga ebeera terina maanyi gagisindika kuva mu kifo.

 

Kyokka omugoba w’emmotoka alina okubeera omwegendereza ennyo nga akuumira amaaso ku Dashboard kubanga kuno kw’olabira obubonero bwonna obukulaga embeera emmotoka mw’eri na ki ky’ebeera yeetaaga mu kiseera ekyo.

 

Newankubadde nga omugoba abeera asobola okukola ku zimu ku nsonga eziremesezza emmotoka okutandika, kibeera kirungi n’otwala ekidduka mu Garagi abakugu ne bakekebejja.