Agambibwa okutta bba Poliisi emuggalidde

POLIISI e Kasangati ekutte eyaliko Nantebe (Chairperson) wa Gitta_Nabuttaka ku bigambibwa nti Alina ky'amanyi ku nfa ya bba.

Agambibwa okutta bba Poliisi emuggalidde
By Moses Nyanzi
Journalists @New Vision
Kino kiddiridde Poliisi okuyitibwa ku kyalo kino oluvannyuma lw'okufa kwa Richard Ssemambo (55) nga kigambibwa yafunye obutakkaanya ne mukyala we ye ng'asangiddwa ku Makya ga Ssande ng'afudde ng'omulambogwe gugudde mu Galagi emanju w'ennyumba yaabwe.
 
Nnalongo Rebecca Ssegamwenge (60) nga yaliko LC 1 w'ekyalo kino, y'akwattiddwa Poliisi ng'abalala babiri okugiyambako mu kunoonyereza ku nfa ya Ssemambo,ekyatankanibwa wabula ng'abamu ku baliraanwa bakitadde ku Nnalongo okubaako ky'amanyi ku byabaddewo akawungeezi k'Olwomukaaga.
 
Kigambibwa Nnalongo yalabiddwako ng'akutte effumu ng'ayambadde ekkanzu ng'awerekereza Ssemambo enigambo nga kirabika babadde bafunye obutakkaanya nga bwegubadde gutera Okuba nga banyweddemu.
 
"Kitukubye enkyukwe okutuyita nti Ssemambo mufu, tetunnawulirako luyombo lulala lwonna oba okulwanagana okuva ku lwe twawuliddeko Nnalongo nga yeewera naye kasita Poliisi ezze ekole okunoonyereza kwayo" bwe batyo abatuuze bwe baategeezezza.
 
Abatuuze Babiri Abakwattiddwa Ku Kufa Kwa Ssemabo Nga Bali Ku Kabangali Ya Poliisi.(moses Nyanzi)

Abatuuze Babiri Abakwattiddwa Ku Kufa Kwa Ssemabo Nga Bali Ku Kabangali Ya Poliisi.(moses Nyanzi)

 
Nnalongo agamba nti ku Lwomukaaga yagenze najja Ssente ku Ssimu wabula olwakomyewo awaka Ssemambo namubbako emitwalo 50000 N'agenda nazo okunywa nga byonna byabaddewo saawa 12 ez'akawungeezi k''Olwomukaaga teyazzeemu kumulabako wabula bamuyise ku makya ne bamutegeezza nga bba bweyateddwa nasuulibwa mu galagi agenze omutuukako nga mufu ng'alina ekiwundu ku magulu wansi
 
Agattako nti ebadde nkola yaabwe nga omu bw'agenda okunywa asigadde awaka taggalawo galagi nga waakomerawo asindika busindisi ne weggula n'ayingira nga ne ku luno bwe yakoze ye ne yeebaka nga byonna abitegedde nkeera.
 
"Nze mbadde nkyebakirizza kwe kuwulira ampita nga bw'agamba nti Ssemmambo yasuze wano mu galagi,nvuddeyo nga manyi kye kituufu nga simanyi nti mufu,musanze agudde ng'ali mu mpale ate nga eyulise nga kirabika oba yalwanaganye n'abantu ate abadde alina n'omuze okutambula n'ebissi, oba bamusinziza amaanyi nebamufumita,nkitegedde luvannyuma nga yafumitiddwa kigere" bw'atyo Nnaalongo bwe yannyonnyodde.
 
Funayo

Funayo

 
Wabula ssentebe w'ekyalo kino Andrew Nsamba agamba nti abafumbo bano okuggyako ettamiiro eribadde libasingako obungi, tebabadde na mutawaana gwonna era talina musango gwonna gwe yali afunye mu offiisi ye era nga mu budde bw'ekiro ku saawa nga ttaano yasisinkanye abantu okwabadde omugenzi nabakubamu amattaala g'emmotoka nababuuza ogubadde nebamuddamu tewali nga kuliko omu Poliisi gwekutte neyeyongerayo naye amawulire g'okufa bagamusanziiza ku Makya naye kwekutemya ku Poliisi.
 
Poliisi oluvannyuma yeekebejjezza omulambo ne gussibwa ku Kabangali yaayo okugwongerwayo mu ddwaaliro e Mulago, ne bakwatako basatu okuli ne mukazi w'omugenzi Nnalongo.
 
Nnaalongo ne Ssemambo bamaze emyaka egisoba mu 20 nga bali bonna era nga Ssemamabo yakolerako mu Ugachik n'avaayo nga babadde beewuutira bbidde ne Nnaalongo gwe yasanga nga Nnamwandu oluvannyuma lw'okufiirwa bba Ssegamwenge.