Abadde yaakaganza omukazi amubbye eby'omunju n'amala n'amutimpula n'amumeza obumonde

Abadde yaakaganza omukazi amubbye eby'omunju n'amala n'amutimpula n'amumeza obumonde.

Abadde yaakaganza omukazi amubbye eby'omunju n'amala n'amutimpula n'amumeza obumonde
By Moses Lemisa
Journalists @New Vision

OMUVUBUKA abadde yaakaganza omuwala wiiki amwefuulidde n'amukuba ng'amulanga kumubanja bintu bya munju bye  yabbye

Wycliffe  Nuwagaba omutuuze mu Kibe zooni  omusindiisi w’ekigaali  yaakiguddeko omuwala Allen Osuti 20, bwe yakwataganye ne mwannyina ne bamukuba ng’entabwe yavudde Osuti kubba bintu bya Nuwagaba ekyamuwalirizza okumusaba amusegulire kuba yabadde tajja kusoboola bubbi bwe mu bbanga erya wiki emu n’ennaku satu ne babadde bakagalana .

Osuti Ne Nuwagaba Ku Poliisi

Osuti Ne Nuwagaba Ku Poliisi

Nuwagaba yagambye nti omuwala mutunzi wa kyalaani ku kaleerwe we yamusanga namuganza olw’okuba yamulaga nti muntu mulamu baatandiika okubeera bombi ng’ekyasinze okumwewuunyisa yagenze okuvOsuti Nga Bamukutte Bamutwala Ku Poliisi

Osuti Nga Bamukutte Bamutwala Ku Poliisi

a ku mulimu nga waliwo ebintu ebimu byatalaba mu nju saako ne ssente 50,000/ bwe yamubuuzizza gye yabitadde yamugambye nti ye mukyala we bw'aba alina kyatutte aba tabbye.

Nuwagaba yagambye nti embeera yamuyitiriddeko n'asalawo okuteeka kufulu ssatu ku luggi yagenze okudda nga Osuti ne mwannyina bazisazeeko bwe yageezezzaako okubabuuza lwaki bamukolako effujjo mwannyina wa Osuti yamukutte emikono olwo n'amukuba kufulu mu maaso saako n’omukumuyisaamu ensambaggere ekyamuwalirizza okuddukira ku poliisi n'aggulawo omusango ku fayiro nnamba SD REF:05/25/7/2023.

Osuti Ku Poliisi

Osuti Ku Poliisi

Osuti Ne Nuwagaba Ku Poliisi

Osuti Ne Nuwagaba Ku Poliisi

Osuti yakwatiddwa n'ategeeza nti tebamuzannyirako kuba Nuwagaba bwe yali amukwana yamugamba nti amwagala kyavudde ku ki amukyayiire mu bbanga ttono.