Bbebi eyali yawambibwa eddwaaliro addiziddwa bazadde be

BBEBI eyawambibwa eddwaaliro okumala emyezi ena olw’abazadde okulemwa okusasula ssente, kkooti emuddizza bazadde be.

Aturinde ng’asitudde bbebi we gwe baamuddizza. Wakati ye munnamateeka Turyamusiima ne Alinda, taata w’omwana.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

BBEBI eyawambibwa eddwaaliro okumala emyezi ena olw’abazadde okulemwa okusasula ssente, kkooti emuddizza bazadde be.
Omwana ono ow’emyezi ena abadde tabeerangako na bakadde be okuva lwe yazaalibwa okutuusa kkooti bwe yalagidde aweebwe abazadde oluvannyuma lw’ebyavudde mu musaayi okukakasa nti ddala ye bbebi wa Salome Aturinde ne Rogers Bridgers Alinda.
Ku Lwokutaano, omukugu Musa Kirya okuva mu kifo mwe bakeberera DNA ekya gavumenti e Wandegeya yazze mu kkooti n’ayanjulira kkooti ebyava mu kukebera omusaayi nga bikakasa nti omwana yooyo eyazaalibwa abafumbo abo.
Bbebi yakeberebwa ku kiragiro kya kkooti y’omulamuzi Esta Nambayo era Kirya. Okuggyako ssampo kwajulirwa abantu munaana okuli; abaava mu ddwaaliro lya Roswell, munnamateeka w’abazadde Christopher Ochom, Joel Israel Dandire, Juma Kayondo, Joyce Nanteza, Enoch Bahwate, Gerald Sande owa Loving Hearts omwana gy’abadde akuumirwa, Edward Ddamba ne Soleya Nakato abadde alabirira omwana.
Okukebera omwana kyaddirira maama okutegeeza kkooti nti takakasa oba ddala ono ye mwana gwe yazaala kubanga yamuggyibwako nga yaakazaalibwa.
Mu kkooti eddwaaliro lyakiikiriddwa Mukiibi Ssemakula ne Kasim Muwonge.
Omulamuzi yabuuzizza enjuyi zombi oba waliwo ekiremesa okuwaayo omwana nga tewali n’aweebwa bakadde be.
Aturinde ne Mugenyi batuuze b’e Nateete - Kikajjo bagamba nti ab’eddwaaliro lya Rosewell Women & Children Hospital baabatwalako bbebi waabwe olw’ebbanja eriri mu bukadde 20 ezeeyongera nga balemeddwa okusasula obukadde 4. Omwana yazaalibwa mu May 2023.