Akulira akakiiko k'eddembe ly'obuntu alumirizza aba NUP okubuzaawo abantu baabwe
Dec 07, 2023
SSENTEBE w'Akakiiko k'eddembe ly'Obuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission alumirizza abamu ku babaka b'ekibiina kya NUP okuwamba abantu baabwe nga n'abamu babasasula Ensimbi okwebuzaawo olw'okwagala okutuukiriza ebigendererwa byabwe.

NewVision Reporter
@NewVision
SSENTEBE w'Akakiiko k'eddembe ly'Obuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission alumirizza abamu ku babaka b'ekibiina kya NUP okuwamba abantu baabwe nga n'abamu babasasula Ensimbi okwebuzaawo olw'okwagala okutuukiriza ebigendererwa byabwe.Bino webigidde ng'Ababaka ku ludda oluvuganya Gavaumenti nga bakulembeddwamu abakulira Mathias Mpuuga Nsamba olunaku olwajjo baakubye ebituli mu Alipoota eyafulumizizza gavumenti ku bantu baabwe bebagamba nti baabuzibwawo ekyali kyabaviirako n'okuzira entuula za Palamenti.Ssentebe w'akakiiko k'Eddembe ly'Obuntu Mariam Wangadya asinzidde mu kwogerako eri Bannamawulire ku kitebe kyabwe nga betegekera okukuza olunaku lw'Eddembe ly'obuntu olw'okubeerawo nga ennaku z'omwezi 11 omwezi guno n'alumiriza abamu ku babaka ba NUP okubeera emabega w'ekiwamba bantu kyebalumiriza gavumenti. Wangadya ayogedde ku Fayiro 18 ez'abawagizi ba NUP abagambibwa okubuzibwawo ezaggalwawo n'ategeeza Alipoota baagiwa akakiiko ka Palaementi ak'eddembe ly'obuntu era baakola okunoonyereza kwonna okwali kwetaagisa.
No Comment