Abooluganda basoowaganye omukulu n'alumiriza muto we okwagala okumuttira mu maka ga nnyaabwe ge yabalekera

ABOOLUGANDA babiri basoowaganye omukulu n'alumiriza muto we mu kkooti okumuggunda agakonde n'ensambaggere olw'okumugambako okuleeta abantu mu nnyumba ya nnyaabwe kati omugenzi.

Abooluganda basoowaganye omukulu n'alumiriza muto we okwagala okumuttira mu maka ga nnyaabwe ge yabalekera
By Ssuuna Peter
Journalists @New Vision
#Caroline Mpumwire #Isaac Kateregga #Solomon Ssebalu

ABOOLUGANDA babiri basoowaganye omukulu n'alumiriza muto we mu kkooti okumuggunda agakonde n'ensambaggere olw'okumugambako okuleeta abantu mu nnyumba ya nnyaabwe kati omugenzi.

Solomon Ssebalu 39, akola ng'omuwabuzi mu byenfuna mu kkampuni ya Yinsuwa eya UAP nga mutuuze w'e Busega Central B zzooni yaleeteddwa mukulu we Isaac Kateregga mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo ng'amuvunaana okumukuba n'amutuusaako ebisago eby’amaanyi.

 

Bino byabadde mu maaso g'omulamuzi Adams Byarugaba eyagubadde mu mitambo ng'awuliriza enjuyi zombi.

Ng'akulembeddwa omuwaabi wa Gavumenti, Caroline Mpumwire, Kateregga yategeezezza kkooti nti, nga nnyaabwe amaze okufa, yakomawo okuva mu America atereeze ekimu ku bisenge by'ennyumba mw'anaasulanga naye kyamubuukako okusanga ng'amaka yasenzaamu abantu abalala.

Yagambye nti olwatuuka mu luggya nga December 14, 2023, yamusangamu kwe kumubuuzaako wabula yamwanukula na bivumo era nga kino bwe kitaamumalira, n'amukakkakkanako n'amutujja ensambaggere n'eng’uumi kwe kuyita abaaliwo okumutaasa mbu ng'anaatera okumutta.

Yategeezezza nti n'ekisinga okumuluma kwe kuba nti nnyaabwe yabalekera ennyumba ya bisenge munaana kati ye muto we n'amusindiikiriza mu mizigo gy'awaka ennyumba n'agiteekamu mikwano gye n'atakoma okwo nga buli lw'amugambako ate amukuba.

Ono mu kkooti, era yalumirizza muto we okuba n'obusungu obw'ettumbiizi nga buli amugambako ayagala kumukuba n'asaba omulamuzi obwenkanya Ssebalu akangavvulwe ng'amateeka bwe galagira.