Alien Skin bamugguddeko omusango gw'okukuba omusawo e Nsambya

OMUYIMBI Allien Skin aguddwako emisango emirala egy'okutimpula omuntu n'amutusaako obuvune obwamany

Alien Skin ng'ali mu kkooti
By Margaret Zalwango
Journalists @New Vision
OMUYIMBI Allien Skin aguddwako emisango emirala egy'okutimpula omuntu n'amutusaako obuvune obwamanyi.
 
Fayiro ssabawaabi wa gavumenti gyataddeko omukono, Patrick Mulwana 30 amanyiddwa nga Allien Skin avunaanibwa okukuba Dr Zaidi Matovu omusawo mu ddwaliro e Nsambya.
 
Kuno basagasseeko okukuba omukuumi Alex Odongo ne babatusaako obuvune obwamanyi.
 
Emisango gino Allien avunaanibwa wamu ne mukwano gwe Julius Mugabi ng'emisango baagizza n'abalala mu November 19,2024 ku ddwaliro e Nsambya 
 
Bino webigidde nga Allien Ali mu kkomera gyeyasindikibwa ku Lwokusatu ku misango gy'obwakkondo bweyabba essimu ne walati omwali emitwalo 48 n'endaga muntu ebya Salim Mubiru.