Eddie Mutwe aleeteddwa mu kkooti e Masaka ne bamusomera emisango 6
May 05, 2025
Eddy Mutwe aleteddwa mu Kkooti e Masaka. Omukuumi wa Bobi wine amanyiddwa ennyo nga Eddy Mutwe aleeteddwa mu kooti e Masaka.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Richard Kyanjo
Omukuumi wa Bobi wine amanyiddwa ennyo nga Eddy Mutwe aleeteddwa mu kooti e Masaka.
Eddie Mutwe ng'atuuse ku kkooti
Ono asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kooti ento Abdullah Kayiza n'asomebwa e misango mukaaga gyeyazza mu district ye Lwengo omwaka oguwedde .
Abasirikale abali mu byambalo bya Bulijjo nga batwala Eddie Mutwe
Looya we Maglian Kazimbwe atutegeezezza nti olw'embeera y'obulamu Eddy Mutwe etabadde nungi gyabaddemu basabye omulamuzi asooke afune obujajjabi omulamuzi kyakiriza era n'alagira atwalibwe mu ddwaliro lye kkomera e Masaka afune ku bujanjabi mpaka nga April 25 bwanakomawo okuwulira ebikwata ku misango gwe.
Related Articles
No Comment