Wadde enguudo zonna eziyingira ekibuga ziriko obuguwa okuli abaserikale abataganya muntu yenna atalina nsonga yasimba kuyingira kibuga, waliwo abawaguza ne bayingira.
Ono yasazeewo afuuke omudaala ne yeesiba by'atunda
Mu kibuga wakati namwo mulimu abaserikele nga bano omulimu gwabwe gwakutangira abo abawaguza ne bayingira.
Omuserikale omukyala ng'atangira abantu okuyingira ekibuga
Nga bwe bagamba nti atakulekeera naawe tomulekera, abantu nabo tebakkiriza kufuluma kibuga anti bwe babagoba emmanga nga bambuka ,bwe babagoba engulu nga badda obukiika kkono. Badda mu jangu onkwekule ne poliisi!
Abamu ku baabadde bazze mu kibuga nga bateekako kakokola tondeka nnyuma
Poliisi leero ewaliriziddwa okuggyayo omukka ogubalagala ne bagukuba mu bantu ne babuna emiwabo kyokka mu kaseera katono nnyo baba bakomyewo.
Abatembeeyi naddala abantu eby’okulya omuli amenvu n’emiyembe be basinga okwetala mu kibuga , okwo gattako abantu ab’ebigise emigugu ku mitwe ne ku bugaali.
Waliwo omu eyasazeewo omudaala aguteeke ku mubiri gwe, ebintu by’atunda n’abyetimba.
Ono yasazeewo engugu ye agiteeke ku mutwe
Owa kagaali engugu yagitadde mu maaso ka ggaali ye