Abazadde olwaleero basanze akaseera akazibu okuzza abaana baabwe ku masomero naddala abo ababadde bakozesa entambula ey'olukale olw'enkuba ekedde okufudemba enkya ya leero.
Abazadde nga batwala abaana baabwe okulinnya mmotoka ezibazza ku ssomero. Baabadde mu kibuga Kampala ku nkuba eyakedde okufudemba.
Omusasi waffe leero akuleetedde ebifaananyi ebikulu by'otosaanye kusubwa ku ebyo ebifudde mu kibuga nga abazadde batoba okuzza abaana baabwe mu masomero.
Taata ng'ekuba emukuba ne muwala we gwe yabadde azza ku ssomero.
Maama ng'akwatiddeko muwala we wakati mu nnamutikwa w'enkuba eyafudembye kumakya.