Olwokutaano lwa wiiki ewedde, Bukedde yategeka kkwiizi w'amasomero ga Pulayimale mwe gabbinkanira ne gannaaga okuwagala obwongo bw'abayizi. Kuno kwali ku Kitante Primary School era tukuleetedde ebyaliyo mu bifaananyi 7!
Abayizi nga bayisa mu ebyo bye baabadde bagendako.
Omusomesa ng'aliko by'alengesa omuyizi we.
Bano mu kifo ky'okwanukula ebibuuzo enseko zabasingidde.
Omuyizi ng'addamu ekibuuzo ekimubuuziddwa
Obwongo bwabadde bubeesera!
Yalwanye okujjukira ansa gy'alina okuwa kyokka obwongo bw'alabise ng'obumwegaana!