EMBEERA ya kiyongobero wano mu maka awagenda okuziikibwa mutabani wa Hajji Nadduli, Sulaiman Jakana Nadduli ku kyalo Kaddunda mu muluka gw’e Kaddunda e Kapeeka mu disitulikiti y’e Nakaseke.
Abasima entaana omugenda okuziikibwa omugenzi Jakana Sulaiman Nadduli.
Mu kiseera kino entaana omunaawumuzzibwa omubiri gw'omugenzi esimibwa ate ng'Abasiramu bwe basoma ennyiriri ez'enjawulo.
Jakana afudde ekiro ekikeesezza olunaku lwa leero era waakuziikibwa ku ssaawa 10:00 ez'olweggulo.
Abakungubazi baatuuse dda.
Abamu ku bannaddiini baatuuse dda awagenda okuziikibwa omugenzi.
Abakungubazi mu tenti.