Emiranga n'ebiwoobe mu kuziika Fr. Lubanga e Nsambya mu bifaananyi 6

Fr. Lubanga yaziikiddwa eggulo ku kigo ky’e Nsambya era Mmisa y'okusibula omugenzi yakulembeddwa Ssaabasumba Ssemogerere.

Emiranga n'ebiwoobe mu kuziika Fr. Lubanga e Nsambya mu bifaananyi 6
By Ponsiano Nsimbi
Journalists @New Vision
#Ebifaananyi #Fr. Lubanga #Nsambya

EmirangaA n’ebiwoobe bibuutikidde omukolo gw'okuziika Fr. Francis Xavier Lubanga 43, eyafiiridde mu kabenje wiiki ewedde ku mukolo ogwetabyeko Bafaaza abasoba mu 300 ku kigo ky’e Nsambya.

Abooluganda nga bakulembeddwamu Fr.Ssekabira mukulu w'omugenzi nga baganzika ekimuli ku Ssanduuke.

Abooluganda nga bakulembeddwamu Fr.Ssekabira mukulu w'omugenzi nga baganzika ekimuli ku Ssanduuke.

Fr. Lubanga yaziikiddwa eggulo ku kigo ky’e Nsambya era Mmisa y'okusibula omugenzi yakulembeddwa Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere.

Ssaabasumba Ssemogerere yennyamidde olw’obubenje obuyitiridde obufiiriddemu abantu abangji ng’ate oluusi buva ku bulagajjavu.
Maama w'omugenzi ng'abamuwaniridde wakati mu maziga.

Maama w'omugenzi ng'abamuwaniridde wakati mu maziga.

Ng'oggyeeko Bafaaza ababadde banekedde mu langi ya kakobe okuziika, kwetabiddwako bannaddiini n'Abaseminaliyo okuva mu Seminaliyo y’e Kinyamasika omugenzi gy’abadde asomesa ne Ggaba.

Ssaabasumba yayambiddwako omubaka wa Paapa eyawummula, Ssaabasumba Augustine Kasujja n’omusumba w'e Masaka Serverus Jjumba ng'ebyafaayo by'omugenzi byasomeddwa Cansala w'Essaza Kya Kampala  Rev. Fr. Dr. Pius Male Ssentumbe.

Ssaabasumba Ssemogerere yagambye nti obubenje bumalawo abantu ate nga tebwewalika kubanga buva ku bidduka n’enguudo embi oluusi ate ebiteewalika.

Bazadde ba Fr.Lubanga taata ne maama Lawrence Mukasa n'abooluganda nga baganziika ekimuli

Bazadde ba Fr.Lubanga taata ne maama Lawrence Mukasa n'abooluganda nga baganziika ekimuli

Ayogedde ku Fr.Lubanga nga Katonda gw’abadde yawunda n’ebitone eby’enjawulo by’akozesezza ku myaka omukama gy’amuwadde okugasa abalala okuli neky’okunjula abalala okuli n’Abasaaserdooti.

Asasaasidde bazadde b’omugenzi, abooluganda, abayizi b'abadde abasomesa n’Abasaaserodooti  olw’okufiirwako munnaabwe ne yeebaza abazadde olw’okuwaayo abaana baabwe okuli n’omugenzi Fr. Lubanga okuweereza omukama n’okumugunjula mu ddiini n’okukkiriza.

Okuziika Fr. Lubanga.

Okuziika Fr. Lubanga.

Lawrence Mukasa taata w’omugenzi yeebazizza Abasumba n’Abasaseerodooti bonna abayambye Fr. Lubanga okutuuka ku kirabo ky’Obusaseerdooti n'abababeereddewo mu kaseera k'okungubaga.

Akulira seminaaliyo y'e Kinyamasika Fr. Dr.Vicent Muhindo ayogedde ku Fr. Lubanga ng’abadde musajja omwegayirizi,omuntu mulamu, omwetoowaze, omukozi, omugezi omwesimbu era abadde omumalirivu mu buweereza bwe.

Fr. Charles Ssekabira mukulu w'omugenzi asabye nti naye bw’abanga afudde aziikibwe kumpi ne muto we.