Engeri enkuba y'eggulo gye yagootaanyizza emirimu gya Bannakampala n'etwala emmaali

ENKUBA eyatonnye ku Lwokubiri yasannyalaza emirimu gya Bannakampala n’ebitundu eby’enjawulo ebiriraanye ekibuga olw’amazzi agaabadde amanji ennyo agaayanjadde mu makubo ne mu bizimbe!

Engeri enkuba y'eggulo gye yagootaanyizza emirimu gya Bannakampala n'etwala emmaali
By Eria Luyimbazi
Journalists @New Vision
#Ebifaananyi

ENKUBA eyatonnye ku Lwokubiri yasannyalaza emirimu gya Bannakampala n’ebitundu eby’enjawulo ebiriraanye ekibuga olw’amazzi agaabadde amanji ennyo agaayanjadde mu makubo ne mu bizimbe!

Omwana ku lugwanyu lwa payipu nga yeetegereza ebiveera ebitwalibwa amazzi.

Omwana ku lugwanyu lwa payipu nga yeetegereza ebiveera ebitwalibwa amazzi.

Ku container Village amazzi gaayanjaalidde mu luguudo nga bannannyini maduuka basigadde munda nga bwe balinda gakendeere  balyoke bafulume.

Amazzi nga gaagala okutwala mmotoka ya buyonjo mu kibuga.

Amazzi nga gaagala okutwala mmotoka ya buyonjo mu kibuga.

Ku kizimbe kya Qualicel amazzi gaayingidde mu maduuka ga basuubuzi era obwedda bakutte baketi nga bagasena ng’eno bwe bagayiwa wabweru.

Amazzi nga gasaze ku container village.

Amazzi nga gasaze ku container village.

Ku mwala gw’e Nakivubo abaana abanoonya sikulaapu  baagumbye ku midumu egitambuza amazzi nga bwe bakebera ebiveera ebyabadde bitwalibwa amazzi okwekenneenya ebigalimu. 

Tukutuku ng'egezaako okuwagaanya eyite mu mazzi.

Tukutuku ng'egezaako okuwagaanya eyite mu mazzi.