OMULABIRIZI w’e Namirembe, Moses Banja yennyamidde olw’abazadde abawawaabira abakulu b’amasomero olw'okubasaba ssente z'okuliisa abaana baabwe ekyemisana n'okubagulira yunifoomu.
Yabyogeredde ku somero lya Gayaza Junior nga likuza olunaku lwa Gayaza Day, ng'omukolo gwategekeddwa ku ssomero lya Gayaza Junior ettabi ly'e Jjungo ku Ssande. Omukolo gwatandiise n’okusaba okwakulembeddwamu Bp. Banja ng’ayambibwako bannaddiini abalala okuva mu kkanisa ya Uganda.
Nga tanneetaba mu kusaba, yasoose kulambuzibwa ssomero n'alambuzibwa n’ekidiba ekiwugirwamu ekiri mu kuzimbibwa.
Banja yakukkulumidde abazadde abalonkoma abakulu b’amasomero babasibe olw'okubasaba ssente z’okuliisa n’okwambaza abaana baabwe oba okussaawo enkulaakulana we basomera ng'agamba nti Gavumenti ssente z'ewa amasomero tezisobola kukola ku byetaago by'essomero byonna.
Era yasabye abazadde okuyigiriza abaana ennimi zaabwe enzaaliranwa basobole okubaamu empeke banguyirwe n'okukwata amangu ennimi endala ezibasomesebwa. Banja era yeebazizza Katonda olw’ekisa ky'atadde ku Gayaza Junior emyaka 121 ne livaamu ebibala omuli ettabi ly'e Jjungo eriwezezza emyaka 10, bbaasi, n’ebirala.
Ku mukolo gwe gumu, Bp. Banja yakubisizza abayizi 162 ebirayiro by’okweyatulira okwegaana sitaani n’ebikolwa bye byonna era n’abassaako emikono okubayingiza obuggya mu kisibo kya Kristu.
Harriet Ssenkali kamisona okuva mu minisitule y’ebyenjigiriza nga ye yakiikiridde akola nga minisita w’ebyenjigiriza, Dr. JC Muyingo, yayozaayozezza essomero lino olw'okuweza emyaka 121 nga libangula abayizi n’asiima Ekkanisa ya Uganda eyalitandika olw’okukwasizaako Gavumenti mu kutumbula ebyenjigiriza.
Akulira Gayaza Junior School, Sarah Tebugulwa Kizito, yalambuludde ku buwanguzi bwe batuuseeko n’ategeeza nti enkulaakulana nnyingi zikyajja nga mu kiseera kino batandise ‘dining hall’. Yategeezezza nti maama Nnaabagereka Slyvia Nagginda yasiimye Ekisaakaate ky’omwaka 2027 kitegekerwe ku ssomero lino n’akoowoola abazadde okuleeta abaana babangulwe