Ebifaananyi

Ekyabadde ku ssomero lya Mitala Maria ss nga lijaguza emyaka 60

Ekyabadde ku ssomero lya Mitala Maria ss nga lijaguza emyaka 60

Abaana nga basanyusa abagenyi
By: Mathias Mazinga, Journalist @New Vision

Essomero lya St. Balikuddembe SS Mitala-Maria, eryayatiikirira ennyo mu by’okuyimba, ebya katemba n’emizannyo,  mu myaka gya 80 ne 90, lijaguzza emyaka 60 bukya litandikibwawo.

Ssaabawasumba w'essaza ekkulu erya Kampala Paul Semogerere ne Dr Augustine Kasujja

Ssaabawasumba w'essaza ekkulu erya Kampala Paul Semogerere ne Dr Augustine Kasujja


Omukolo gwabadde ku ssomerro lino e Mitala-Maria, mu disitulikiti y’e Mpigi, ku Ssande. Missa ey’okwebaza y’akulembeddwa Ssabasumba Paulo Ssemogerere, ng’ali wamu ne Ssabepiskoopi Dr Augustine Kasujja Omubaka wa Paapa, Bwanamukulu w’e Mitala-Maria Faaza Francis Xavier Kikomeko, Fr. Dr. Ambrose Bwangatto, n’Abasaserdooti abalala.

Bweyabadde ayigiriza, Ssabasumba Ssemogerere y’atendereezza nnyo obuweereza bw’essomero lino, lyeyagambye nti lisomesezza n’okugunjula abantu bangi ab’omugaso, omuli bannamateeka, abasomesa, bayinginia, bannabyabuzi, abasuubuzi, ababalirizi b’ebitabo, Abasasrdooti ne Banaddiini. Y’anokoddeyo  omulamuzi Flavia Nabakooza, n’omukenkufu Joseph Ssekandi asomesa mu Uganda Martyrs University e Nkozi, ngabamu kubantu abagundiivu abayise mu ssomero lino.

Paul Saka ng'abuuza ku Dr Augustine Kasujja

Paul Saka ng'abuuza ku Dr Augustine Kasujja


Yeebazizza abaatandisi b’essomero lino, nabonna abazze baliddukanya n’okuliwagira mungeri ezitali zimu.
Y’asiimye mu ngeri ey’enjawulo omusomesa Paul Saaka, olw’okuyiiyiza essomero lino ennyimba ennungi, zeyagambye nti zaayamba nnyo essomero lino okufuna ettuttumu olw’obunyuvu n’amakulu gaazo, era neziyigiriza bangi empisa ennugi ez’obugunjufu, n’obuntubulamu. Y’anokoddeyo ennyimba nga Munsi eno okozeemu ki, ne Abazadde mmwe bendiko, zeyagambye nti nekaakano zikyasomesa abantu.

Abaana nga basanyusa abagenyi

Abaana nga basanyusa abagenyi


Ssabasumba y’asesezza abantu bweyagambye nti emyaka 60 essomero lino gyerimaze tegyeyolekera mubantu berisomesezza mwokka, wabula nemundabika yalyo. Awo weyasabidde abaasomerayo beekolemu omulimo, beenyigire butereevu munteekateeka z’okuliddaabulula n’okuzzaawo ettutumu lyalyo.
Ssabepiskoopi Dr. Augustine Kasujja  Omubaka wa Paapa eyawummula naye yagasse eddooboozi lye kulya Ssabasumba, n’asaba abaasomerako mu ssomero lino okubangako akasente kebawaayo buli mwaka, mu ngeri eyakyeyagalire. Y’ategeezezza nti nezi Yunivasite nga Oxford ezisinza ettutumu munsi yonna, nazo ziyimiriddewo kubuvujjirizi bw’abo abaali abayizi baazo.
Y’asabye abayizi n’abavubuka bonna okutwala eky’okulabirako ky’Omujulizi Yozefu Balikuddembe, gweyagambye nti y’ali mukulembeze ajjudde okukkiriza, era nga yalinga nnamba emu mubuli kimu.

Minisita Suzan Nakawiki ku ddyo ate ku kkono ye Paul Saka

Minisita Suzan Nakawiki ku ddyo ate ku kkono ye Paul Saka

Abavubuka era y’abasabye balowooze kukuyingira mubibiina bya Bannaddiini abamonaaki, nga ekyaba Benedictines, Cistercians ne Carmelites, byeyagambye nti Bannauganda babyesulubabba, sso nga waliwo obwetaavu bungi obw’okusabira Klezia n’eggwanga.
Ssentebe w’olukiiko  olufuzi olw’essomero lino, Faaza Dr Ambrose Bwangatto y’asabye abayizi okweyambisa amagezi, obukugu, n’empisa ennungi ezibayigirizibwa ku ssomero, okukyusa embeera z’ebitundu byabwe.
Omukulu w’essomero, Anne Najjuka Bukenya y’ategeezezza nti baasalawo okulongoosa essomero lino ngabaliteekamu ppeeva, ng’emu kungeri y’okukuza jubileewo ey’emyaka 60, mu ngeri ey’okwekulaakulanya.
Y’ayongedde okutegeeza nti batadde amaanyi mangi mukuzimba ekibiina ky’abaasomerako mu ssomero lino, n’okubakunga okwenyigira munteekateeka z’okuzzaawo ettutumu lyalyo.

Abaana nga absanyusa abagenzyi

Abaana nga absanyusa abagenzyi


Essaza Liwadde Essomero Omudaali
Ngakabonero ak’okusiima ettoffaali essomero lya St. Balikuddembe SS lyelitadde ku by’enjiiriza n’enkulaakulana y’eggwanga, Ssabasumba Paulo Ssemogerere y’akwsizza omukulu w’essomero lino Anne Najjuka Omudaali ogwa Ssabepiskoopi Dr. Joseph Nakabaale Kiwanuka.
Abakoleredde Essomero nabo Basiimiddwa
Ate olukiiko oluddukanya essomero lino lw’asiimye n’okuwa ebrabo abantu  abakoleredde esomero lino  mungeri ey’enjawulo. Kubano kw’abaddeko headimasita eyasooka Hon Damiano Lubega, Dr. Joseph Ssekandi, Omulamuzi Flavia Nabakooza, omuyiiya w’ennyimba Paul Saaka, John Mary Luwakanya, n’abalala.

Abaana nga baleeta ebirabo

Abaana nga baleeta ebirabo


Basonze Ssente
Waabaddewo omukolo ogw'okusonda ssente z'okumaliriza omulimo gw'okuyooyota essomero ne ppeeva. Omulamuzi Flavia Nabakooza y'awaddeyo obukadde 3, Ssabasumba Paul Ssemogerrere ne Ssabasumba Augustine Kasujja n'Abasaserdooti bebasula nabo obukadde 6 nemitwao 50. Abalala kwabaddeko Hon, Susan Nakawuki eyawadeyo obukade 2, Faaza Charles Kiggunfu emitwalo 50, ne Hon. Teddy Nambooze emitwalo 50.

Ik 90

Ik 90


Omukolo gwetabiddwako ne bannabyabufuzi bomukitundiu kino, okw’abadde Omubaka omukyala owa Mpigi, Teddy Nambooze, n’omubaka wa Mawokota South Hon. Susan Nakawuki.
Tags: